
132
Oluyimba olw’oku madaala.
1Mukama, ojjuukirire Dawudi
Okubonaabona kwe kwonna.
2132:2 Lub 49:24, Is 60:16Bwe yalayirira Mukama,
Ne yeeyama Omuzira wa Yakobo:
3Mazima siriyingira mu weema ey’ennyumba yange,
So siririnnya ku kiriri kyange;
4132:4 Nge 6:4Siriwa amaaso gange okwebaka,
Newakubadde enkowekowe zange otulo;
5132:5 1 Byom 22:7, Bik 7:46, Lub 13:8, 1 Kol 1:10Okutuusa lwe ndimulabira Mukama ekifo,
Eweema ey’Omuzira wa Yakobo.
6132:6 1 Sam 7:1, 1 Byom 13:5Laba, twagiwulirako mu Efulasa:
Twagiraba mu nnimiro ey’ekibira.
7132:7 Zab 99:5Tuliyingira mu weema ze;
Tulisinziza awali entebe y’ebigere bye.
8132:8 Zab 78:61132:8-10 2 Byom 6:41,42Golokoka, ai Mukama, oyingire mu kifo kyo eky’okuwummuliramu;
Ggwe, n’essanduuko ey’amaanyi go.
9132:9 Yob 29:14, Is 61:10Bakabona bo bambale obutuukirivu;
N’abatukuvu bo boogerere waggulu olw’essanyu.
10Ku lw’omuddu wo Dawudi
Togoba maaso g’oyo gwe wafukako amafuta.
11132:11,12 1 Bassek 2:4; 8:25, 2 Byom 6:16, Zab 89:3,4; 110:4, Luk 1:32, Bik 2:30Mukama yalayirira Dawudi mu mazima;
Talikyuka kugaleka:
Ku bibala eby’omubiri gwo nditeeka ku ntebe yo.
12Abaana bo bwe banakkirizanga okwekuuma endagaano yange
N’obujulirwa bwange bwe nnaabayigirizanga,
Era n’abaana baabwe banaatuulanga ku ntebe yo emirembe gyonna.
13Kubanga Mukama yeeroboza Sayuuni;
Yakiyaayaanira okukituulamu.
14132:13,14 Zab 68:16; 78:68, Mat 23:21Kino kye kifo kye mpummuliramu ennaku zonna:
Wano we nnaatuulanga;
kubanga nayaayaanirawo.
15Naakiwanga omukisa mungi ekyengera kyakyo:
Nakkusanga abaavu baakyo emmere.
16132:16 Zab 132:9Era ne bakabona baakyo ndibambaza obulokozi:
N’abatukuvu baakyo balyogerera waggulu olw’essanyu.
17132:17 1 Bassek 11:36; 15:4, Ez 29:21, Luk 1:69Eyo gye ndyanyisiza ejjembe lya Dawudi:
Namuteekerawo ettabaaza eyo gwe nnafukako amafuta.
18132:18 Yob 8:22Abalabe be ndibambaza ensonyi:
Naye ku mutwe gwe engule ye eriraba omukisa