
130
Oluyimba olw’oku madaala.
1130:1 Kung 3:55, Yon 2:2Mu buziba nkukaabidde ggwe, ai Mukama.
2130:2 Zab 86:6Mukama, owulire eddoboozi lyange:
Amatu go galowooze
Eddoboozi ery’okwegayirira kwange.
3130:3 Yob 10:14, Zab 76:7; 143:2, Nak 1:6, Mal 3:2, Kub 6:17Mukama, bw’onoobalanga ebitali bya butuukirivu,
Ai Mukama, aliyimirira aluwa?
4130:4 1 Bassek 8:39,40, Is 55:7, Yer 33:8,9, Dan 9:9, Bef 1:7Naye waliwo okusonyiwa w’oli,
Olyoke otiibwenga.
5130:5 Zab 33:20; 119:74, Is 26:8Nnindirira Mukama, emmeeme yange erinda,
Era ekigambo kye kye nsuubira.
6130:6 Zab 119:147; 123:2Emmeeme yange eyaayaanira Mukama,
Okusinga abakuumi bwe bayaayaanira obudde okukya;
Weewaawo, okusinga abakuumi bwe bayaayaanira obudde okukya.
7130:7 Zab 131:3Ggwe Isiraeri, suubiranga Mukama;
Kubanga awali Mukama we wali okusaasira,
Era awali ye we wali okununula okungi.
8130:8 Zab 119:9, Mat 1:21, Luk 1:68, Tit 2:14Era oyo alinunula Isiraeri
Mu butali butuukirivu bwe bwonna.