
13
1Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
13:1 Yob 12:24, Zab 79:5; 89:46, Is 59:2Olituusa wa, ai Mukama,
okunneerabiranga emirembe gyonna?
Olituusa wa okunkisanga amaaso go?
2Ndituusa wa okuteesanga mu meeme yange,
Nga ndaba ennaku mu mutima gwange obudde okuziba?
Alituusa wa omulabe wange okugulumizibwanga ku nze?
313:3 1 Sam 14:27, Ezer 9:8, Nge 29:13, Bef 1:18Lowooza onziremu, ai Mukama Katonda wange:
Yakira amaaso gange, nneme okwebaka okufa;
413:4 Ma 32:27Omulabe wange alemenga okwogera nti Mmuwangudde:
Abankyawa balemenga okujaguza nga nsagaasagana.
513:5 Zab 9:14Naye nneesize okusaasira kwo;
Omutima gwange gunaasanyukiranga obulokozi bwo:
613:6 Zab 116:7; 119:17Naayimbiranga Mukama,
Kubanga ankoledde obulungi obungi.
All rights reserved – The Bible Society of Uganda