
129
Oluyimba olw’oku madaala.
1129:1 Kuv 1:14, Zab 124:1, Yer 2:2, Kos 2:15Emirundi mingi gye baakambonyaabonyezza okuva mu buto bwange
Isiraeri ayogere kaakano;
2129:2 2 Kol 4:8,9Emirundi mingi gye baakambonyaabonyezza okuva mu buto bwange:
Naye ne batampangula.
3129:3 Is 51:23, Mi 3:12Abakabala baakabala omugongo gwange;
Baatema ensalosalo empanvu.
4Mukama mutuukirivu:
Asazeesaze emigwa egy’ababi.
5129:5 Zab 35:4Bakwatibwe ensonyi, bazzibwe ennyuma,
Bonna abakyawa Sayuuni.
6129:6 2 Bassek 19:26, Yob 8:12Babe ng’omuddo oguli waggulu ku nnyumba,
Oguwotoka nga tegunnakula:
7Omukunguzi n’atajjuza ogwo omukono gwe,
Newakubadde asiba ebinywa ekifuba kye.
8129:8 Luus 2:4, Zab 118:26Newakubadde abayita teboogera
Nti Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe;
Tubawadde omukisa mu linnya lya Mukama.