
128
Oluyimba olw’oku madaala.
1128:1 Zab 112:1, Nge 8:32Alina omukisa buli atya Mukama,
Atambulira mu makubo ge.
2128:2 Is 3:10Kubanga onoolyanga emirimu egy’emikono gyo:
Oliba wa mukisa, era oliraba ebirungi.
3128:3 Zab 52:8, Ez 19:10Mukazi wo aliba ng’omuzabbibu
ogubala mu nju ez’omunda mu nnyumba yo:
Abaana bo ng’amatabi g’omuzeyituuni nga beetooloola emmeeza yo.
4Laba, bw’atyo bw’aliweebwa omukisa omuntu
Atya Mukama.
5128:5 Zab 134:3Mukama anaakuwanga omukisa ng’ayima mu Sayuuni:
Naawe onoolabanga ebirungi nga bijja ku Yerusaalemi ennaku zonna ez’obulamu bwo.
6128:6 Lub 50:23, Zab 125:5, Nge 17:6Weewaawo, oliraba abaana b’abaana bo.
Emirembe gibeere ku Isiraeri.
All rights reserved – The Bible Society of Uganda