
127
Oluyimba olw’oku madaala; olwa Sulemaani.
1127:1 Zab 121:4Mukama bw’atazimba nnyumba,
Abagizimba bakolera bwereere:
Mukama bw’atakuuma kibuga,
Omukuumi atunuulirira bwereere.
2127:2 Lub 3:17Mukolera bwereere bwe mukeera okugolokoka, era bwe mulwawo ennyo okwebaka,
Era bwe mulya emmere ey’okutegana:
Kubanga bw’abawa bw’atyo otulo abaagalwa be.
3127:3 Lub 33:5, Mat 28:4Laba, abaana bwe busika bwa Mukama:
N’ebibala eby’olubuto ye mpeera ye.
4Ng’obusaale bwe buli mu mukono gw’omuzira,
Abaana ab’omu buvubuka bwe bali bwe batyo.
5Alina omukisa omuntu omufuko gwe bwe gujjula abo:
Tebaakwatibwenga nsonyi,
Bwe banaayogereranga n’abalabe baabwe mu mulyango.
All rights reserved – The Bible Society of Uganda