
126
Oluyimba olw’oku madaala.
1126:1 Bik 12:9Mukama bwe yazza nate obusibe bwa Sayuuni,
Ne tufaanana ng’abo abaloota.
2126:2 Yob 8:21, Zab 71:19Akamwa kaffe ne kalyoka kajjula enseko,
N’olulimi lwaffe okuyimba:
Ne balyoka boogerera mu mawanga
Nti Mukama abakoledde ebikulu.
3Mukama atukoledde ebikulu;
Kyetuvudde tusanyuka.
4Ozze nate obusibe bwaffe, ai Mukama,
Ng’emigga mu bukiika obwa ddyo.
5126:5 Nek 12:43, Yer 31:9Abasiga nga bakaaba amaziga balikungula nga basanyuka.
6Newakubadde nga yagenda ng’akaaba,
ng’atwala ensigo;
Alidda nate n’essanyu, ng’aleeta ebinywa bye.
All rights reserved – The Bible Society of Uganda