
125
Oluyimba olw’oku madaala.
1125:1 Zab 25:2,3, Nge 10:30Abeesiga Mukama
Baliŋŋanga olusozi Sayuuni, olutajjulukuka, naye lunywera emirembe gyonna.
2125:2 2 Bassek 6:17, Zek 2:5Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi,
Ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be,
Okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
3Kubanga omuggo ogufuga ogw’obubi tegulibeererawo ku mugabo ogw’abatuukirivu;
Abatuukirivu balemenga okugolola emikono gyabwe okukola ebitasaana.
4Obakolenga ebirungi, ai Mukama, abalungi,
N’abo abalina emitima egitali gya bukuusa.
5125:5 Zab 128:6, Nge 2:15, Is 59:8, Bag 6:16Naye abo abeekooloobya mu makubo gaabwe agakyamye,
Mukama alibafulumya wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu.
Emirembe gibeere ku Isiraeri.
All rights reserved – The Bible Society of Uganda