
124
Oluyimba olw’oku madaala; olwa Dawudi.
1124:1,2 Yos 1:5, Zab 94:17, Bar 8:31Singa Mukama si ye yali ku luuyi lwaffe,
Isiraeri ayogere kaakano;
2Singa Mukama si ye yali ku luuyi lwaffe,
Abantu bwe baatugolokokerako:
3124:3 Zab 35:25; 56:1, Yer 51:34Banditumize, nga tukyali balamu,
Obusungu bwabwe lwe bwatubuubuukirako:
4124:4 Zab 32:6; 69:1,2Amazzi ganditutwalidde ddala,
Mukoka yandiyise ku mmeeme yaffe:
5Amazzi ag’amalala gandiyise ku mmeeme yaffe.
6Mukama yeebazibwe,
Atatugabudde okuba emmere eri amannyo gaabwe.
7124:7 Zab 91:3Emmeeme yaffe ewonye ng’ennyonyi mu mutego ogw’abatezi:
Omutego gukutuse, naffe tuwonye.
8124:8 Zab 121:2, Is 50:10, Beb 13:6Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama,
Eyakola eggulu n’ensi.
All rights reserved – The Bible Society of Uganda