
123
Oluyimba olw’oku madaala.
1123:1 Zab 2:4; 121:1Eri ggwe nnyimusa amaaso gange,
Ai ggwe atuula mu ggulu.
2Laba, amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe,
Amaaso g’omuzaana nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we,
N’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,
Okutuusa lw’alitusaasira.
3123:3 Zab 4:1, Nek 4:4Otusaasire, ai Mukama, otusaasire:
Kubanga tujjudde nnyo okunyoomebwa.
4123:4 Nek 2:19Emmeeme yaffe ejjudde nnyo
Okuduulirwa abo abalina emirembe,
N’okunyoomebwa abo abalina amalala.
All rights reserved – The Bible Society of Uganda