
122
Oluyimba olw’oku madaala; olwa Dawudi.
1122:1 Is 2:3, Yer 31:6, Zek 8:21Nasanyuka bwe baŋŋamba
Nti Tugende mu nnyumba ya Mukama.
2Ebigere byaffe biyimiridde
Munda mu miryango gyo, ggwe Yerusaalemi;
3Ggwe Yerusaalemi, eyazimbibwa
Okuba ekibuga ekigattiddwa awamu:
4122:4 Ma 16:16Ebika gye birinnya, bye bika bya Mukama,
Okuba obujulirwa eri Isiraeri,
Okwebazanga erinnya lya Mukama.
5122:5 1 Bassek 3:16-28Kubanga baateeka omwo entebe ez’okusalirako omusango,
Entebe ez’ennyumba ya Dawudi.
6122:6 Yer 29:7; 51:50Musabirenga Yerusaalemi emirembe:
Baliraba omukisa abakwagala.
7122:7 Zab 48:13Emirembe gibeere mu bisenge byo,
N’omukisa mu mayu go.
8122:8 1 Sam 25:6Ku lwa baganda bange ne bannange
Naayogera kaakano nti Emirembe gibeere mu ggwe.
9Olw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe
Naagezangako okukukola obulungi.