
121
Oluyimba olw’oku madaala.
1121:1 Zab 123:1, Yer 3:23Naayimusa amaaso gange eri ensozi:
Okubeerwa kwange kuliva wa?
2121:2 Zab 115:15; 124:8Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
Eyakola eggulu n’ensi.
3121:3,4 1 Sam 2:9, Zab 41:2; 127:1, Nge 3:26, Is 27:3Taliganya kigere kyo okusagaasagana:
Akukuuma taabongootenga.
4121:4 Zab 32:6; 69:1,2Laba, akuuma Isiraeri
Taabongootenga so teyeebakenga.
5121:5 Zab 16:8; 91:1Mukama ye mukuumi wo:
Mukama kye kisiikirize kyo ku mukono gwo ogwa ddyo.
6121:6 Is 49:10Enjuba terikwokya emisana,
Newakubadde omwezi ekiro.
7121:7 Zab 91:10Mukama anaakukuumanga eri obubi bwonna;
Ono ye anaakuumanga emmeeme yo.
8121:8 Ma 28:6Mukama anaakukuumanga amagenda go n’amadda,
Okuva leero n’okutuuka emirembe gyonna.
All rights reserved – The Bible Society of Uganda