
120
Oluyimba olw’oku madaala.
1120:1 Zab 118:5, Yob 2:2Mu kunakuwala kwange nakoowoola Mukama,
N’ampitaba.
2Omponye emmeeme yange, ai Mukama, eri emimwa egy’obulimba,
N’eri olulimi olw’obukuusakuusa.
3120:3 Yak 3:6Oliweebwa ki, olyongerwako ki nate,
Ggwe olulimi olw’obukuusakuusa?
4120:4 Zab 127:4; 140:10Obusaale obw’obwogi obw’abazira,
Era n’amanda ag’entaseesa.
5120:5 Is 21:16, Yer 49:28, Ez 27:13,21Zinsanze, kubanga ntambulira mu Meseki
Kubanga ntuula mu weema za Kedali!
6Emmeeme yange yaakamaze ennaku nnyingi okutuula
Awamu n’oyo akyawa emirembe.
7Nze njagala emirembe:
Naye bwe njogera, baagala okulwana.
All rights reserved – The Bible Society of Uganda