
12
Ya mukulu wa bayimbi; ey’ekiseminisi. Zabbuli ya Dawudi.
112:1 Is 57:1, Mi 7:2Yamba, Mukama; kubanga atya Katonda aggwaawo;
Kubanga abakkiriza bakendeera
mu baana b’abantu.
212:2 Zab 5:9, Yer 9:8, Bar 16:18, Yak 1:8Boogera ebitaliimu buli muntu ne munne:
Boogera n’emimwa eginyumiriza n’emitima ebiri.
3Mukama alimalawo emimwa gyonna eginyumiriza,
N’olulimi olwogera ebikulu:
4Aboogedde nti N’olulimi lwaffe tuliwangula;
Emimwa gyaffe gye gyaffe: atufuga ye ani?
512:5 Zab 9:12, Is 33:10Olw’okunyagibwa kw’abaavu, olw’okusinda kw’abanafu,
Kaakano naagolokoka, Mukama bw’ayogera;
Naamuteeka mu mirembe gwe basooza.
612:6 Zab 18:30; 119:140, Nge 30:5Ebigambo bya Mukama bye bigambo ebirongoofu;
Nga ffeeza egezebwa mu kyoto ku nsi,
Erongoosebwa emirundi omusanvu.
7Onoobakuumanga, ai Mukama,
Onoobawonyanga mu mirembe gino ennaku zonna.
8Ababi batambula ku njuyi zonna,
Obugwagwa bwe bugulumizibwanga mu baana b’abantu.