
119
ALEFU
1119:1 Lub 17:1, Zab 128:1Balina omukisa abo abatuukirira mu kkubo,
Abatambulira mu mateeka ga Mukama.
2119:2 Ma 4:29, 2 Byom 15:2Balina omukisa abo abeekuuma bye yategeeza,
Abamunoonya n’omutima gwonna.
3Weewaawo, abo tebakola ebitali bya butuukirivu;
Batambulira mu makubo ge.
4Watukuutira ebiragiro byo,
Tubikwatenga nnyo.
5Singa amakubo gange ganywedde
Okukwata amateeka go!
6119:6 Yob 22:26, Zab 119:80Bwe ntyo bwe siikwatibwenga nsonyi,
Bwe nnaalowoozanga bye walagira byonna.
7Naakwebazanga n’omutima ogutalina bukuusa,
Bwe ndiba nga njize emisango gyo egy’ensonga.
8119:8 Zab 38:21; 71:9,18Naakwatanga amateeka go:
Nkwegayiridde, tondekera ddala.
BEESI
9119:9 Nge 1:4Omuvubuka anaalongoosanga atya ekkubo lye?
Nga yeegendereza ng’ekigambo kyo bwe kiri.
10N’omutima gwange gwonna nkunoonyezza:
Nkwegayiridde, nneme okukyama okuleka bye walagira.
11119:11 Zab 37:31, Luk 2:19,51Nterese ekigambo kyo mu mutima gwange,
Nneme okwonoona mu maaso go.
12Weebazibwa, ai Mukama:
Onjigirizenga amateeka go.
13119:13 Zab 40:9N’emimwa gyange mbuulidde
Emisango gyonna egy’akamwa ko.
14119:14 Nge 3:13-15; 8:10,11Nsanyukidde ekkubo ly’ebyo bye wategeeza,
Nga asanyukira obugagga bwonna.
15Naafumiitirizanga ebiragiro byo.
Era naalowoozanga amakubo go.
16Naasanyukiranga amateeka go:
Seerabirenga kigambo kyo.
GIMERI
17119:17 Zab 13:6Onkolere omuddu wo eby’ekisa ekingi, mbeerenga omulamu;
Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ekigambo kyo.
18Onzibule amaaso gange, ndabe
Eby’ekitalo ebiva mu mateeka go.
19119:19 Zab 39:12Nze ndi mutambuze mu nsi:
Tonkisa bye walagira.
20119:20 Zab 42:1,2Emmeeme yange ekutuse olw’okuyaayaana
Kw’eyaayaanira emisango gyo ebiro byonna.
21119:21 Ma 27:26Onenyezza ab’amalala abakolimirwa,
Abakyama okuleka bye walagira.
22Onzigyeko okuvumibwa n’okunyoomebwa;
Kubanga neekuumye bye wategeeza.
23Era n’abalangira batuula ne banjogerako obubi:
Naye omuddu wo nafumiitiriza amateeka go.
24119:24 Bar 7:22Era bye wategeeza bye nsanyukira,
Era ebyo be bantu be nteesa nabo.
DALESI
25119:25 Zab 44:25Emmeeme yange yeegasse n’enfuufu:
Onzuukize ng’ekigambo kyo bwe kiri.
26Nayatula amakubo gange, naawe n’onziramu:
Onjigirize amateeka go.
27Ontegeeze ntegeere ekkubo ery’ebiragiro byo:
Ne ndyoka nfumiitiriza emirimu gyo egy’ekitalo.
28119:28 Zab 22:14Emmeeme yange esaanuuse olw’okunyiikaala:
Ompe amaanyi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
29119:29 Nge 30:8Onziyeko ekkubo ery’obulimba:
Era ompe amateeka go n’ekisa.
30Neerobozezza ekkubo ery’obwesigwa:
Emisango ngitadde mu maaso gange.
31Neegatta n’ebyo bye wategeeza:
Ai Mukama, tonkwasa nsonyi.
32119:32 1 Bassek 4:29, Is 60:5, 2 Kol 6:11,13Naddukiranga mu kkubo ly’ebyo bye walagira,
Bw’oligaziya omutima gwange.
HE
33119:33 Mat 10:22, Beb 3:6, Kub 2:26Onjigirize, ai Mukama, ekkubo ery’amateeka go;
Nange naalyekuumanga okutuusa enkomerero.
34119:34 Nge 2:6, Yak 1:5Ompe amagezi, nange neekuumanga amateeka go;
Weewaawo, naagakwatanga n’omutima gwange gwonna.
35119:35 Zab 25:4Ompise mu kkubo ly’ebyo bye walagira:
Kubanga mu eryo mwe nsanyukira.
36119:36 Zab 141:4, Luk 12:15, 1 Tim 6:10, Beb 13:5Okyuse omutima gwange eri ebyo bye wategeeza,
So si eri kwegomba.
37119:37 Nge 23:5Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu,
Era onzuukize mu makubo go.
38Onyweze ekigambo kyo eri
omuddu wo,
Ky’eky’okutyanga ggwe.
39Ompunjulire ekivume kye ntya;
Kubanga emisango gyo mirungi
40Laba, neegombanga ebiragiro byo:
Onzuukirize mu butuukirivu bwo.
VAWU
41119:41 Zab 106:4Era n’okusaasira kwo kutuuke gye ndi, ai Mukama,
Bwe bulokozi bwo, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
42119:42 Nge 27:11Bwe ntyo bwe ndiba n’eky’okuddamu eri oyo anvuma;
Kubanga neesiga ekigambo kyo.
43So toggiramu ddala kigambo kya mazima mu kamwa kange;
Kubanga naasuubiranga emisango gyo.
44Bwe ntyo bwe nnaakwatanga amateeka go ennaku zonna
Emirembe n’emirembe.
45119:45 Nge 4:12Era naatambulanga nga neeyabya;
Kubanga nnoonyezza ebiragiro byo.
46119:46 Mat 10:18, Bik 26:1,2Era naayogeranga ku ebyo bye wategeeza mu maaso ga bakabaka,
Ne sikwatibwa nsonyi.
47Era naasanyukiranga ebyo bye walagira,
Bye nnaayagalanga.
48119:48 Zab 28:2Era naayimusanga engalo zange eri ebyo bye walagira, bye nnaayagalanga:
Era naafumiitirizanga amateeka go.
ZAYINI
49Ojjukire ekigambo eri omuddu wo,
Kubanga wansuubiza.
50119:50 Bar 15:4Eryo lye ssanyu lyange bwe mbonyaabonyezebwa:
Kubanga ekigambo kyo kinzuukizizza.
51119:51 Yob 23:11, Zab 123:4, Yer 20:7Ab’amalala bansekeredde nnyo:
Naye ne sseekooloobyanga okuva mu mateeka go.
52Njijukidde emisango gyo egy’edda, ai Mukama,
Ne nneesanyusa.
53119:53 Nek 13:25Obusungu obubuubuuka bunkutte,
Olw’ababi abaleka amateeka go.
54Amateeka go ge nnyimbirako
Mu nnyumba ey’okutambula kwange.
55119:55 Zab 42:8; 63:6Najjukiranga erinnya lyo ekiro, ai Mukama,
Era nakwatanga amateeka go.
56Ekigambo kino kyange,
Okukuumanga ebiragiro byo.
57119:57 Zab 16:5, Yer 10:16, Kung 3:24Mukama gwe mugabo gwange:
Nayogera nga naakwatanga ebigambo byo.
58Nasaba ekisa kyo n’omutima
gwange gwonna:
Onsaasire ng’ekigambo kyo bwe kiri.
59119:59 Kung 3:40, Luk 15:17Nalowooza amakubo gange,
Ne nkyusa ebigere byange eri
ebyo bye wategeeza.
60Nayanguwa ne sirwawo,
Okukwata ebyo bye walagira.
61Emigwa egy’ababi gimbisse;
Naye seerabidde mateeka go.
62119:62 Bik 16:25Mu ttumbi naagolokokanga
okukwebaza
Olw’emisango gyo egy’ensonga.
63119:63 Zab 101:6Nze ndi munne w’abo bonna abakutya,
N’abo abakwata ebiragiro byo.
64119:64 Zab 33:5Ai Mukama, ensi ejjudde okusaasira kwo:
Onjigirize amateeka go.
TEESI
65Okoledde ebirungi omuddu wo,
Ai Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
66119:66 Baf 1:9Onjigirizenga okusala emisango egy’ensonga n’okutegeera;
Kubanga nakkirizanga ebyo bye walagira.
67119:67 Yer 31:18,19, Beb 12:11, Kub 3:19Nga sinnabonyaabonyezebwa, nakyama;
Naye kaakano nkwata ekigambo kyo.
68119:68 Zab 107:1Oli mulungi, era okola ebirungi;
Onjigirizenga amateeka go.
69119:69 Yob 13:4, Zab 109:2Ab’amalala banjiiyirizzaako
eky’obulimba:
N’omutima gwange gwonna neekuumanga ebiragiro byo.
70119:70 Zab 17:10, Is 6:10, Bik 28:27Omutima gwabwe gugezze ng’amasavu;
Naye nze nsanyukira amateeka go.
71119:71 Beb 12:10Kwangasa okubonyaabonyezebwa;
Ndyoke njige amateeka go.
72119:72 Zab 19:10, Nge 8:10Amateeka g’akamwa ko gampoomera nze
Okusinga ebitundu eby’ezaabu n’effeeza enkumi n’enkumi.
YODI
73119:73 Yob 10:8, Zab 100:3Engalo zo ze zankola, ze zammumba:
Ompe amagezi, njigenga ebyo bye walagira.
74119:74 Zab 34:2; 130:5Abakutya banandabanga ne basanyuka;
Kubanga naasuubiranga ekigambo kyo.
75119:75 Zab 33:4Mmanyi, ai Mukama, ng’emisango gyo gya nsonga,
Era nga wambonyaabonya olw’obwesigwa.
76Nkwegayiridde, ekisa kyo ekirungi kinsanyuse,
Ng’ekigambo kyo bwe kiri eri omuddu wo.
77Okusaasira kwo okulungi kujje gye ndi, mbeerenga omulamu:
Kubanga amateeka go ge gansanyusa.
78119:78 Zab 25:3Ab’amalala bakwatibwe ensonyi; kubanga bammegga awatali nsonga.
Naye naafumiitirizanga ebiragiro byo.
79119:79 Yer 15:19Abakutya bankyukire,
Era balitegeera bye wategeeza.
80Omutima gwange gutuukirire mu mateeka go;
Nnemenga okukwatibwa ensonyi.
KAFU
81119:81 Zab 42:1,2; 84:2Emmeeme yange ezirise olw’obulokozi bwo:
Naye nsuubira ekigambo kyo.
82119:82 Zab 69:3; 101:2Amaaso gange gakulukuse olw’ekigambo kyo,
Nga njogera nti Olinsanyusa ddi?
83119:83 Yob 30:30Kubanga nfuuse ng’eddiba eriwanikibwa mu mukka;
Naye seerabira mateeka go.
84119:84 Zab 7:6; 39:4, Kub 6:10Ennaku ez’omuddu wo ziri mmeka?
Olituukiriza ddi omusango ku abo abanjigganya?
85119:85 Zab 7:15; 35:7Ab’amalala bansimidde obunnya
Abatagoberera mateeka go.
86119:86 Zab 35:19; 109:26Bye walagira byonna bya bwesigwa:
Banjigganya awatali nsonga: ggwe onnyambe.
87Baabulako katono banzikirize ku nsi;
Naye ne sireka biragiro byo.
88Onzuukize ng’ekisa kyo ekirungi bwe kiri;
Bwe ntyo bwe nnaakwatanga akamwa ko bye kategeeza.
LAMEDI
89119:89 Is 40:8, Mat 24:35Emirembe gyonna, ai Mukama,
Ekigambo kyo kinyweredde mu ggulu.
90119:90,91 Zab 148:6, Mub 1:4, Yer 33:25Obwesigwa bwo bubeerera emirembe gyonna:
Wanyweza ensi, n’ebeererawo.
91Bikyaliwo leero nga bwe walagira;
Kubanga ebintu byonna baddu bo.
92Singa amateeka go si ge gansanyusa,
Nandizikiridde bwe nnabonyaabonyezebwa.
93Seerabirenga biragiro byo ennaku zonna;
Kubanga wanzuukiza n’ebyo.
94Nze ndi wuwo, ondokole;
Kubanga naanoonyanga ebiragiro byo.
95Ababi bannindiridde okunzikiriza;
Naye nze naalowoozanga bye wategeeza.
96Ndabye ebintu byonna ebyatuukirira gye bikoma;
Naye ekiragiro kyo kigazi nnyo.
MEMU
97119:97 Zab 1:2Amateeka go nga ngaagala!
Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde.
98119:98 Ma 4:6Bye walagira bingeziwaza okusinga abalabe bange;
Kubanga bali wamu nange ennaku zonna.
99119:99 2 Tim 3:15Nnina okutegeera okusinga abayigiriza bange bonna;
Kubanga bye wategeeza bye ndowooza.
100119:100 Yob 12:12; 32:7-9Ntegeera okukira abakadde,
Kubanga neekuumanga ebiragiro byo.
101119:101 Nge 1:15Naaziyizanga ebigere byange obutatambula mu kkubo ebbi lyonna,
Ndyoke nkwatenga ekigambo kyo.
102Seekooloobyanga kuleka misango gyo;
Kubanga ggwe wanjigirizanga.
103119:103 Zab 19:10Ebigambo byo nga bimpoomera mu kibuno kyange!
Bisinga omubisi gw’enjuki mu kamwa kange!
104Ebiragiro byo bye binfunya okutegeera:
Kyenvudde nkyawa buli kkubo ery’obulimba.
NUUNI
105119:105 Nge 6:23, 2 Peet 1:19Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange,
N’omusana eri ekkubo lyange.
106119:106 Nek 10:29Nalayira, era nkikakasizza kino,
Nga naakwatanga emisango gyo egy’ensonga.
107Mbonyaabonyezebwa nnyo;
Onzuukize, ai Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
108119:108 Kos 14:2, Beb 13:15Okkirize, nkwegayiridde, ebyo akamwa kange bye kaakuwa, ai Mukama, nga tekaawalirirzibwa,
Era onjigirizenga emisango gyo.
109119:109 Balam 12:3Emmeeme yange eri mu mukono gwange ennaku zonna;
Naye seerabira mateeka go.
110119:110 Zab 91:3Ababi bantegedde omutego;
Naye sikyamanga kuleka biragiro byo.
111119:111 Ma 33:4, Yer 15:16Bye wategeeza mbitutte okuba obusika obutaliggwaawo;
Kubanga ebyo bye binsanyusa omutima gwange.
112119:112 Zab 119:33Mpese omutima gwange okutuukiriza amateeka go,
Emirembe gyonna, okutuusa enkomerero.
SAMEKI
113119:113 1 Bassek 18:21, Yak 1:8Nkyaye abo abalina emyoyo egy’obulimba;
Naye amateeka go ge njagala.
114119:114 Zab 3:3; 32:7Ggwe oli kifo kyange kye nneekwekamu, n’engabo yange:
Nsuubira ekigambo kyo.
115119:115 Zab 6:8Mugende mumbeere wala, mmwe abakozi b’obubi;
Ndyoke neekuumenga Katonda wange bye yalagira.
116119:116 Zab 25:2; 146:5, Bar 5:5Ompanirire ng’ekigambo kyo bwe kiri, mbeerenga omulamu;
Nneme okukwatibwanga ensonyi olw’essuubi lyange.
117Ggwe ompanirire, nange naabeerangawo mirembe,
Era neegenderezanga amateeka go ennaku zonna.
118Onyoomye abo bonna abakyama okuleka amateeka go;
Kubanga obukuusakuusa bwabwe bulimba.
119119:119 Is 1:25, Ez 22:18, Mal 3:3Omalawo ababi bonna ab’ensi ng’amasengere:
Kyenvudde njagala ebyo bye wategeeza.
120119:120 Kaab 3:16Omubiri gwange gukankana olw’okukutya;
Era ntya emisango gyo.
AYINI
121Nkoze eby’omusango n’eby’obutuukirivu:
Tondekera abo abanjooga.
122119:122 Yob 17:3Weeyimirire omuddu wo olw’obulungi:
Ab’amalala baleme okunjooganga.
123119:123 Zab 69:3Amaaso gange ganzibye olw’obulokozi bwo,
N’olw’ekigambo kyo ekituukirivu.
124Okole omuddu wo ng’okusaasira kwo bwe kuli,
Era onjigirizenga amateeka go.
125119:125 Zab 116:16Nze ndi muddu wo, ompe okutegeera;
Ndyoke mmanye ebyo bye wategeeza.
126Obudde butuuse Mukama okukola emirimu;
Kubanga badibizza amateeka go.
127119:127 Zab 119:72Kyenvudde njagala ebyo bye walagira
Okusinga ezaabu, weewaawo, okusinga ezaabu ennungi.
128Kyenvudde ndowooza ebiragiro byo byonna eby’ebigambo byonna nga bya nsonga;
Era nkyaye buli kkubo ery’obulimba.
PE
129Bye wategeeza bya kitalo:
Emmeeme yange kyeva ebyekuuma.
130119:130 Zab 19:7Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana;
Biwa okutegeera abatalina magezi.
131119:131 Yob 29:23, Zab 42:1Nayasama nnyo akamwa kange ne mpeevuuma;
Kubanga nayaayaanira ebyo bye walagira.
132119:132 Zab 25:16Onkyukire, onsaasire,
Nga bw’oyisa okusaasira abo abaagala erinnya lyo.
133119:133 Zab 19:13Oluŋŋamizenga ebigere byange mu kigambo kyo;
So obutali butuukirivu bwonna buleme okunfuganga.
134119:134 Luk 1:74Onnunule nneme okujoogebwanga abantu:
Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ebiragiro byo.
135119:135 Zab 4:6Oyakize amaaso go omuddu wo;
Era onjigirizenga amateeka go.
136119:136 Yer 9:1,18; 14:17Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amazzi,
Kubanga tebakwata mateeka go.
TIZADDE
137119:137 Ezer 9:15, Zab 116:5, Dan 9:7Oli mutuukirivu, ai Mukama,
N’emisango gyo gya nsonga.
138119:138 Zab 19:7-9Walagira bye wategeeza mu butuukirivu
Ne mu bwesigwa ddala ddala.
139119:139 Zab 69:9Obuggya bwange bunzikirizza,
Kubanga abalabe bange beerabidde ebigambo byo.
140119:140 Zab 12:6Ekigambo kyo kirongoofu nnyo;
Omuddu wo kyava akyagala.
141Nze ndi muto, nnyoomebwa:
Naye seerabira biragiro byo.
142119:142 Zab 19:9, Yok 17:17Obutuukirivu bwo bwe butuukirivu obw’emirembe gyonna,
N’amateeka go ge mazima.
143119:143 Zab 119:24Ennaku n’okulumwa bindabye:
Naye bye walagira bye binsanyusa.
144119:144 Yob 32:8Bye wategeeza bya butuukirivu
emirembe gyonna:
Ompe okutegeera, nange naabeeranga mulamu.
KOOFU
145119:145 Zab 119:2Nkoowodde n’omutima gwange gwonna; ompitabe, ai Mukama:
Naakuumanga amateeka go.
146Nkukoowodde; ondokole,
Nange naakwatanga ebyo bye wategeeza.
147119:147 Zab 5:3; 130:5Nakeera emmambya nga tennasala, ne nkoowoola:
Nasuubira ebigambo byo.
148119:148 Zab 119:55Amaaso gange gaasooka ebisisimuka by’ekiro,
Nfumiitirize ekigambo kyo.
149Owulire eddoboozi lyange ng’ekisa kyo bwe kiri:
Onzuukize, ai Mukama, ng’emisango gyo bwe giri:
150Basembera abagoberera obubi;
Bali wala amateeka go.
151119:151 Zab 145:18Ggwe oli kumpi, ai Mukama;
Ne byonna bye walagira ge mazima.
152119:152 Zab 119:89Edda n’edda namanyanga olw’ebyo bye wategeeza,
Nga wabinyweza emirembe gyonna.
REESI
153119:153 Yob 36:15Olowoozenga okubonaabona kwange, omponye;
Kubanga seerabira mateeka go.
154119:154 1 Sam 24:15, Mi 7:9Ompolereze ensonga yange, onnunule:
Onzuukize ng’ekigambo kyo bwe kiri.
155119:155 Yob 5:4Obulokozi buba wala ababi;
Kubanga tebanoonya mateeka go.
156119:156 2 Sam 24:14Okusaasira kwo okulungi kungi, ai Mukama:
Onzuukize ng’emisango gyo bwe giri.
157119:157 Zab 3:1,2Abanjigganya n’abankyawa bangi:
Naye seekooloobyanga kuleka bye wategeeza.
158119:158 Yer 3:20Nalaba abo abakola eby’enkwe, ne nnakuwala;
Kubanga tebakwata kigambo kyo.
159Olowooze bwe njagala ebiragiro byo:
Onzuukize, ai Mukama, ng’ekisa kyo bwe kiri.
160119:160 Zab 139:17Ekigambo kyo kyonna kyonna mazima;
N’emisango gyo egy’ensonga gyonna gyonna gibeerera emirembe gyonna.
SINI
161119:161 1 Sam 24:11Abalangira banjigganyizza awatali nsonga;
Naye omutima gwange gutya nnyo ebigambo byo.
162119:162 Zab 2:11, Is 9:3, Yer 15:16Nsanyukira ekigambo kyo,
Ng’alaba omunyago omungi.
163Nkyaye obulimba, mbutamwa;
Naye amateeka go ge njagala.
164Emirundi musanvu buli lunaku nkutendereza;
Olw’emisango gyo egy’ensonga.
165119:165 Zab 37:11,37, Nge 3:2, Is 32:17, 1 Yok 2:10Abaagala amateeka go balina emirembe mingi;
So tebaliiko kibeesittaza.
166119:166 Lub 49:18Nsuubidde obulokozi bwo, ai Mukama,
Era nkoze bye walagira.
167Emmeeme yange yakwatanga bye wategeeza;
Era mbyagala kitalo.
168119:168 Yob 34:21, Zab 139:3, Nge 5:21Naakwatanga ebiragiro byo n’ebyo bye wategeeza;
Kubanga amakubo gange gonna gali mu maaso go.
TAWU
169119:169 Nge 2:6, Yak 1:5Okukaaba kwange kusemberenga mu maaso go, ai Mukama:
Ompe okutegeeranga ng’ekigambo kyo bwe kiri.
170Okwegayirira kwange kujjenga mu maaso go:
Omponye ng’ekigambo kyo bwe kiri.
171119:171 Zab 145:7Emimwa gyange gyogere ettendo;
Kubanga onjigiriza amateeka go.
172Olulimi lwange luyimbe ku kigambo kyo;
Kubanga bye walagira byonna bwe butuukirivu.
173119:173 Yos 24:22, Nge 1:29, Luk 10:42Omukono gwo gube nga gweteeseteese okunnyamba;
Kubanga nneerobozza ebiragiro byo.
174119:174 Zab 119:20,24Njaayaanidde obulokozi bwo, ai Mukama;
Era amateeka go ge gansanyusa.
175Emmeeme yange ebeerenga ennamu, era eneekutenderezanga;
N’emisango gyo ginnyambenga,
176119:176 Is 53:6, Mat 18:12, Luk 15:4, 1 Peet 2:25Nakyama ng’endiga ebuze; noonya omuddu wo;
Kubanga seerabira bye walagira.