
116
1116:1 Zab 18:1; 66:19Mmwagala Mukama, kubanga awulidde
Eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
2Kubanga antegedde okutu,
Kyennaavanga mmukoowoola nga nkyali mulamu.
3116:3 Zab 18:4,5Emigwa egy’okufa gyansiba.
N’okulumwa kw’emagombe kwankwata:
Ne ndaba ennaku n’okutegana.
4116:4 Zab 18:6; 118:5Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama;
Nti Ai Mukama, nkwegayiridde, omponye emmeeme yange.
5116:5 Ezer 9:15, Nek 9:8, Zab 11:7; 86:15, Yer 12:1, Kub 16:5Mukama wa kisa, era mutuukirivu;
Weewaawo, Katonda waffe alina okusaasira.
6116:6 Zab 142:6Mukama akuuma abo abatalina nkwe:
Najeezebwa, n’andokola.
7116:7 Zab 13:6, Yer 6:16, Mat 11:29Komawo mu kiwummulo kyo, ggwe emmeeme yange;
Kubanga Mukama akukoledde eby’ekisa ekingi.
8116:8,9 Zab 56:13Kubanga omponyezza emmeeme okufa,
Amaaso gange obutakaaba maziga,
N’ebigere byange obutagwa.
9Naatambuliranga mu maaso ga Mukama
Mu nsi y’abalamu.
10116:10 2 Kol 4:13Nzikiriza, kubanga ndyogera:
Nabonyaabonyezebwa nnyo:
11116:11 Zab 31:22; 62:9, Yer 9:5Ne njogera nga nnyanguwa
Nti Abantu bonna bulimba.
12Kiki kye ndisasula Mukama
Olw’ebirungi bye byonna eri nze?
13116:13 Zab 16:5; 105:1Nditoola akakompe ak’obulokozi,
Era ndikaabira erinnya lya Mukama.
14116:14 Zab 50:14, Yon 2:9Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama,
Weewaawo, mu maaso g’abantu be bonna.
15116:15 Zab 86:16; 119:125Okufa kw’abatukuvu be
Kwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama.
16Ai Mukama, mazima nze ndi muddu wo:
Nze ndi muddu wo, era omwana w’omuzaana wo;
Osumuludde ebyansiba.
17Ndikuwa ssaddaaka ey’okwebaza,
Era ndikaabira erinnya lya Mukama.
18Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama,
Weewaawo, mu maaso g’abantu be bonna;
19Mu mpya z’ennyumba ya Mukama,
Wakati mu ggwe, ggwe Yerusaalemi.
Mumutendereze Mukama.