
115
1115:1 Is 48:11, Ez 36:22Si ffe, ai Mukama, si ffe,
Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwa ekitiibwa
Olw’okusaasira kwo, n’olw’amazima go.
2115:2 Zab 42:3,10; 79:10, Yo 2:17Kiki ekinaaba kiboogeza ab’amawanga
Nti Katonda waabwe ali ludda wa kaakano?
3115:3 Zab 135:6, Dan 4:35Naye Katonda waffe ali mu ggulu:
Akoze bye yayagala byonna.
4115:4 Ma 4:28, Is 37:19, Yer 10:3-5115:4-8 Zab 135:15-18Ebifaananyi byabwe ye ffeeza, ye zaabu,
Omulimu ogw’emikono gy’abantu.
5115:5,6 Kaab 2:18, Kub 9:20Birina obumwa, naye tebyogera;
Birina amaaso, naye tebiraba;
6Birina amatu, naye tebiwulira;
Birina ennyindo, naye tebiwunyiriza;
7115:7 Is 46:7Birina engalo, naye tebizikwasa kintu;
Birina ebigere, naye tebitambula;
So tebyogeza bulago bwabyo.
8115:8 Is 44:9, Yon 2:8Ababikola balibifaanana;
Weewaawo, buli abyesiga.
9115:9-11 Zab 33:20; 62:8; 118:2-4; 135:19,20Ggwe Isiraeri, mwesigenga Mukama:
Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe.
10Ggwe ennyumba ya Alooni, mwesigenga Mukama:
Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe.
11Mmwe abatya Mukama, mwesigenga Mukama:
Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe.
12Mukama atujjukidde; alituwa omukisa;
Aliwa omukisa ennyumba ya Isiraeri;
Aliwa omukisa ennyumba ya Alooni.
13115:13 Zab 112:1, Kub 19:5Aliwa omukisa abo abatya Mukama,
Abato era n’abakulu.
14115:14 Ma 1:11Mukama ayongerenga bulijjo okubaaza.
Mmwe n’abaana bammwe.
15115:15 Zab 134:3Mmwe muweereddwa Mukama omukisa,
Eyakola eggulu n’ensi.
16Eggulu lye ggulu lya Mukama;
Naye ensi yagiwa abaana b’abantu.
17115:17 Zab 6:5Abafu tebatendereza Mukama,
Newakubadde abo bonna abakka mu kusirika;
18115:18 Zab 113:2, Dan 2:20Naye ffe tuneebazanga Mukama
Okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
Mumutendereze Mukama.