
113
1113:1 Zab 104:35; 135:1Mumutendereze Mukama.
Mutendereze, mmwe abaddu ba Mukama.
Mutendereze erinnya lya Mukama.
2113:2 Yob 1:21, Zab 115:18, Dan 2:20Erinnya lya Mukama lyebazibwenga
Okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
3113:3 Zab 48:10; 50:1, Mal 1:11Okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba
Erinnya lya Mukama ligwana okutenderezebwanga.
4113:4 Zab 8:1; 99:2Mukama ali waggulu okusinga amawanga gonna,
N’ekitiibwa kye okusinga eggulu.
5113:5,6 Zab 35:10; 138:6, Is 57:15Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,
Alina entebe ye waggulu,
6Eyeetoowaza okutunuulira
Ebiri mu ggulu ne mu nsi?
7113:7,8 1 Sam 2:8, Yob 36:7, Zab 107:41Ayimusa omwavu mu nfuufu,
Agolokosa omunafu mu lubungo;
8Amutuuze wamu n’abalangira,
Wamu n’abalangira ab’abantu be.
9113:9 1 Sam 2:5, Zab 68:6Atuuza mu nju omukazi omugumba,
N’amusanyusa ng’amuzaazizza abaana.
Mumutendereze Mukama.