
112
1112:1 Zab 1:2; 104:35; 128:1Mumutendereze Mukama.
Alina omukisa oyo atya Mukama,
Asanyukira ennyo amateeka ge.
2112:2 Nge 20:7Ezzadde lye linaabanga lya maanyi ku nsi:
Ezzadde ly’abatuukirivu linaabanga n’omukisa.
3112:3 Nge 3:16; 15:6Ebintu n’obugagga biri mu nnyumba ye:
N’obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.
4112:4 Yob 11:17, Zab 111:4Eri omutuukirivu omusana gujja awali ekizikiza:
Oyo wa kisa, ajjudde okusaasira, era ye mutuukirivu.
5112:5 Zab 37:26Alaba ebirungi oyo akola eby’ekisa, awola;
Alinyweza ensonga ye bw’alisalirwa omusango.
6112:6 Zab 55:22, Nge 10:7Kubanga taasagaasaganenga emirembe gyonna;
Omutuukirivu anajjukirwanga ennaku zonna ezitaliggwaawo.
7112:7 Zab 57:7, Nge 1:33Taatyenga bigambo bya bubi:
Omutima gwe gunywera, nga gwesiga Mukama.
8112:8 Zab 54:7Omutima gwe gutereera, taatyenga,
Okutuusa lw’aliraba by’ayagala nga bituuse ku balabe be.
9112:9 Zab 75:10, Bar 12:13, 2 Kol 9:9, 1 Tim 6:18Agabye, awadde abaavu;
Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna:
Ejjembe lye lirigulumizibwa n’ekitiibwa.
10112:10 Yob 8:13, Mat 8:12Omubi alibiraba, alirumwa omwoyo;
Aliruma obujiji n’amannyo ge, alinyolwa:
Omubi by’ayagala birifa.