
111
1111:1 Zab 104:35; 138:1Mumutendereze Mukama.
Neebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna,
Mu kibiina eky’abatuukirivu abateesa, ne mu kkuŋŋaaniro.
2111:2 Zab 92:5; 139:14, Kub 15:3Emirimu gya Mukama mikulu,
Ginoonyezebwa abo bonna abagisanyukira.
3111:3 Zab 112:3,9; 145:5Omulimu gwe gwa kitiibwa, gwa bukulu:
N’obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.
4111:4 Zab 86:15Ajjukizizza emirimu gye egy’ekitalo:
Mukama wa kisa, ajjudde okusaasira.
5111:5 Zab 34:9,10; 105:8, Mat 6:31-33Awa emmere abo abamutya:
Anajjukiranga endagaano ye emirembe gyonna.
6Alaze abantu be obuyinza obw’emirimu gye,
Ng’abawa obusika obw’amawanga.
7111:7 Zab 19:7Emirimu egy’emikono gye ge mazima n’omusango;
Ebiragiro bye byonna binywera.
8111:8 Is 40:8, Mat 5:18, Kub 15:3Biteekebwawo emirembe n’emirembe,
Bikolebwawo mu mazima n’obutuukirivu.
9111:9 Zab 133:3, Luk 1:49,68Yawa abantu be okununulwa;
Yalagira endagaano ye emirembe gyonna:
Erinnya lye ttukuvu, lya kitiibwa.
10111:10 Ma 4:6, Yob 28:28, Nge 1:7; 3:4; 9:10Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera;
Balina okutegeera okulungi bonna abakola bwe batyo;
Ettendo lye libeerera emirembe gyonna.