
110
Zabbuli ya Dawudi.
1110:1 Mak 12:36, Bik 2:34,35, 1 Kol 15:25, Beb 1:13; 10:12,13Mukama agamba mukama wange nti
Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.
2110:2 Zab 45:6, Dan 7:14Mukama alisindika omuggo ogw’amaanyi go okuva mu Sayuuni:
Ggwe fugira wakati mu balabe bo.
3110:3 Balam 5:2, Zab 96:9Abantu bo beewaayo n’omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw’obuyinza bwo:
Mu bulungi obw’obutukuvu, olina omusulo ogw’obuvubuka bwo,
Oguva mu lubuto lw’enkya.
4110:4 Lub 14:18, Kubal 23:19, Zek 6:13, Beb 5:6; 6:17,18,20; 7:17,21Mukama yalayira, so talyejjusa,
Nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna
Ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.
5110:5 Zab 2:5,12; 16:8, Bar 2:5, Kub 11:18Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo
Alifumita bakabaka ku lunaku olw’obusungu bwe.
6110:6 Zab 68:21, Is 2:4, Yo 3:12Alisala emisango mu mawanga,
Alijjuza ebifo emirambo
Alifumita omutwe mu nsi ennyingi.
7Alinywa ku nsulo eri mu kkubo:
Kyaliva ayimusa omutwe.