
11
Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
111:1 1 Sam 23:14, Zab 25:2Mukama gwe nneesiga: Mugamba mutya emmeeme yange nti
Ddukira ku lusozi lwammwe ng’ennyonyi?
211:2 64:4Kubanga, laba, ababi batega omutego,
Bateekateeka akasaale ku lugoye,
Balasize mu nzikiza abalina omutima ogw’amazima.
3Oba nga emisingi girizikirizibwa,
Kiki omutuukirivu ky’ayinza okukola?
411:4 Zab 33:13, Is 66:1, Kaab 2:20, Mat 5:34, Bik 7:49Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu,
Mukama, entebe ye eri mu ggulu;
Amaaso ge galaba abaana b’abantu, ebikowe bye bibakema.
511:5 Lub 22:1, Zab 5:5, Yak 1:12Mukama akema abatuukirivu:
Naye omubi n’oyo ayagala eby’amaanyi emmeeme ye ebakyawa.
611:6 Lub 19:24, Zab 75:8, Ez 38:22Ku babi anaatonnyesanga ebyambika;
Omuliro n’ekibiriiti n’empewo ezookya binaabeeranga omugabo ogw’ekikompe kyabwe.
711:7 Zab 17:15; 33:5, 1 Yok 3:2, Kub 22:4Kubanga Mukama mutuukirivu; ayagala eby’obutuukirivu:
Abalina omwoyo ogw’amazima baliraba amaaso ge.