
109
Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1109:1 Zab 83:1, Yer 17:14Tosirika, ai Katonda gwe ntendereza;
2Kubanga akamwa k’ababi n’akamwa k’obulimba bakanjasamidde:
Boogedde nange n’olulimi olulimba.
3Era banneetooloola n’ebigambo eby’okukyawa,
Ne balwana nange awatali nsonga.
4109:4 Zab 38:20Olw’okwagala kwange bafuuse balabe bange:
Naye nze nsaba.
5109:5 Zab 35:12Era bansasudde obubi olw’obulungi,
N’okukyawa olw’okwagala kwange.
6Omusseeko omuntu omubi:
Omulabe ayimirirenga ku mukono gwe ogwa ddyo.
7109:7 Nge 28:9Bw’asalirwa omusango, afulume nga gumusinze;
Era okusaba kwe kufuuke ekibi.
8109:8 Yok 17:12, Bik 1:20Ennaku ze zibe ntono;
Omulala alye obukulu bwe.
9109:9 Kuv 22:24, Yer 18:21Abaana be babe nga tebalina kitaabwe,
Ne mukazi we nnamwandu.
10109:10 Lub 4:12, Zab 59:15Abaana be babe mmomboze, basabirizenga;
Banoonyenga emmere mu bifo
byabwe ebyazika.
11Omunyazi atege byonna by’alina;
B’atamanyi banyageenyage emirimu gye.
12109:12 Yob 5:4Anaamwongerako ekisa amubule;
Anaasaasira abaana be nga tebalina kitaabwe naye abule.
13109:13 Zab 9:5; 21:10Ezzadde lye lizikirizibwe;
Mu mirembe egirijja amannya gaabwe gasaangulibwe.
14109:14 Kuv 20:5, Nek 4:5Obutali butuukirivu bwa bajjajjaabe bujjukirwe eri Mukama:
So ekibi kya nnyina kireme okusangulibwa.
15109:15 Yob 18:17 Zab 34:16; 90:8Bibeerenga mu maaso ga Mukama ennaku zonna,
Azikirize okujjukirwa kwabwe ku nsi.
16Kubanga teyajjukira kusaasira,
Naye n’ayigganya omuntu omwavu eyeetaaga,
N’oyo eyalina omutima ogumenyese, okubatta.
17109:17 Ez 35:6Weewaawo, yayagala okukolima,
ne kutuuka gy’ali;
So teyasanyukira kusaba mukisa, ne gumuba wala.
18Era yayambala okukolima ng’ekyambalo kye,
Ne kuyingira mu nda ye ng’amazzi,
Era ng’amafuta mu magumba ge.
19Kubenga gy’ali ng’ekyambalo ky’ayambala,
Era kubenga ng’olukoba lwe yeesiba ennaku zonna.
20Eyo ye mpeera ey’abalabe bange eva eri Mukama,
N’abo aboogera obubi ku mmeeme yange.
21109:21 Zab 69:16Naye olongoose ebyange, ai Katonda Mukama, olw’erinnya lyo:
Kubanga okusaasira kwo kulungi, omponye,
22Kubanga nze ndi mwavu, nneetaga,
N’omutima gwange gufumitiddwa munda yange.
23109:23 Zab 102:11Ŋŋenda ddala ng’ekisiikirize bwe kiggwaawo:
Nkuŋŋunta ng’enzige.
24109:24 Yob 16:8, Zab 35:13Amaviivi gange ganafuwadde olw’okusiiba;
N’omubiri gwange guweebuuse obutagejja.
25109:25 Zab 22:6,7, Is 37:22, Mat 27:39Era nfuuse ekivume gye bali:
Bwe bandaba, banyeenya omutwe gwabwe.
26Onnyambe, ai Mukama Katonda wange;
Nkwegayiridde ondokole ng’okusaasira kwo bwe kuli.
27109:27 Yob 37:7Balyoke bategeere ng’ogwo gwe mukono gwo:
Nga ggwe, Mukama, wakikola.
28109:28 2 Sam 16:12, Is 65:14Bo bakolime, naye ggwe ompe omukisa:
Bwe baligolokoka, balikwatibwa ensonyi, naye omuddu wo alisanyuka.
29109:29 Yob 8:22, Zab 35:26; 71:13Abalabe bange bambale okuswazibwa,
Era beebikke ensonyi zaabwe ng’ekikunta.
30Neebazanga nnyo Mukama n’akamwa kange;
Weewaawo, naamutenderezanga mu kibiina.
31109:31 Zab 16:8Kubanga anaayimiriranga ku mukono ogwa ddyo ogw’omwavu,
Okumulokola eri abo abasalira omusango emmeeme ye.