
108
Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi
1108:1 Zab 112:7108:1-5 Zab 57:7-11Omutima gwange gunywedde, ai Katonda;
Naayimba, weewaawo, naayimba okutendereza, naayimba n’ekitiibwa kyange.
2108:2 1 Byom 15:16Muzuukuke, mmwe amadinda n’ennanga:
Nze naakeera nnyo okuzuukuka.
3Naakwebazanga ggwe, ai Mukama, mu mawanga:
Era naayimbanga okukutendereza mu bantu.
4108:4 Zab 36:5; 113:4Kubanga okusaasira kwo kungi, kusinga eggulu:
N’amazima go gatuuka mu ggulu.
5108:5 Zab 57:5Ogulumizibwe, ai Katonda, okusinga eggulu:
N’ekitiibwa kyo okusinga ensi zonna.
6108:6-13 Zab 60:5-12Muganzi wo alyoke awone,
Olokole n’omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu.
7108:7 Lub 33:17, Zab 89:35Katonda yayogera mu butukuvu bwe nti Ndijaguza:
Ndisala mu Sekemu, era ndigabaagaba ekiwonvu ekya Sukkosi.
8108:8 Lub 49:10, Kubal 32:1, Ma 33:17Gireyaadi wange; Manase wange;
Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange;
Yuda gwe muggo gwange ogw’obwakabaka.
9108:9,10 2 Sam 8:1,2,14Mowaabu kye kinaabirwamu kyange;
Edomu ndimukasukira engatto yange:
Ndyogerera waggulu ku Firisutiya.
10Ani alinnyingiza mu kibuga eky’amaanyi?
Ani eyandeeta mu Edomu?
11108:11 Zab 44:9Totusudde, ai Katonda?
So totabaala, ai Katonda, n’eggye lyaffe.
12108:12 Zab 146:3Otuyambe eri omulabe:
Kubanga obuyambi bw’abantu tebuliimu.
13108:13 Zab 44:5; 118:15,16, Is 63:3Katonda ye alitukoza eby’obuzira:
Kubanga oyo ye alinnyirira ku balabe baffe.