
107
EKITABO 5
1107:1 Zab 106:1Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2107:2 Zab 106:10, Is 62:12Abanunule ba Mukama boogera bwe batyo,
Be yanunula mu mukono gw’omulabe;
3107:3 Zab 106:47, Is 43:5,6; 49:12, Yer 29:14, Ez 39:27N’abakuŋŋaanya mu nsi nnyingi,
Mu buvanjuba ne mu bugwanjuba,
Mu bukiika obwa kkono ne mu bwa ddyo.
4107:4 Ma 32:10Baakyamira mu ddungu mu kkubo omutali bantu;
Ne batalaba kibuga kya kutuulamu.
5Baalumibwa enjala n’ennyonta,
Emmeeme yaabwe n’ezirika mu bo.
6107:6 Zab 50:15; 106:44Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe,
N’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
7107:7 Ezer 8:21Era n’abaluŋŋamiza mu kkubo eggolokofu,
Batuuke mu kibuga eky’okutuulamu.
8Kale singa abantu batendereza Mukama olw’obulungi bwe,
N’olw’eby’amagero bye eri abaana b’abantu!
9107:9 Zab 34:10, Luk 1:53Kubanga akkusa emmeeme eyeegomba,
N’emmeeme erumwa ennyonta agijjuza ebirungi.
10107:10 Yob 10:21; 36:8, Luk 1:79Abo abaatuula mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa,
Nga basibibwa n’ennaku n’ekyuma;
11107:11 Zab 78:40; 106:43, Nge 1:30, Luk 7:30Kubanga baajeemera ebigambo bya Katonda,
Ne banyooma okuteesa kw’oyo ali waggulu ennyo:
12107:12 Zab 22:11Kyeyava azitoya omutima gwabwe n’okutegana;
Ne bagwa, so nga tewali anaabayamba.
13Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe,
N’abalokola mu kweraliikirira kwabwe.
14107:14 Zab 107:10, Is 49:9N’abaggya mu kizikiza n’ekisiikirize eky’okufa,
N’amenyaamenya enjegere zaabwe.
15Kale singa abantu batendereza Mukama olw’obulungi bwe,
N’olw’eby’amagero bye eri abaana b’abantu!
16107:16 Is 45:2Kubanga yamenya enzigi ez’ebikomo,
N’atemera ddala ebisiba eby’ebyuma.
17Abasirusiru olw’okwonoona kwabwe,
N’olw’obutali butuukirivu bwabwe,
babonyaabonyezebwa.
18107:18 Yob 33:20,22Emmeeme yaabwe etamwa emmere yonna yonna;
Ne basemberera emiryango egy’okufa.
19Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe,
N’abalokola mu kweraliikirira kwabwe.
20107:20 2 Bassek 20:5, Zab 103:3,4, Mat 8:8Atuma ekigambo kye, n’abawonya,
N’abaggya mu kuzikirira kwabwe.
21Kale singa abantu batendereza Mukama olw’obulungi bwe,
N’olw’eby’amagero bye eri abaana b’abantu!
22107:22 Zab 9:11; 50:14, Beb 13:15Era bawengayo ssaddaaka ez’okwebaza,
Era batenderenga ebikolwa bye n’okuyimba.
23107:23 Is 42:10Abaserengetera ku nnyanja mu maato,
Abakola emirimu awali amazzi amangi;
24Abo balaba ebikolwa bya Mukama,
N’eby’amagero bye mu buziba.
25107:25 Yon 1:4Kubanga alagira, n’akunsa omuyaga,
Oguyimusa amayengo gaagwo.
26107:26 Zab 22:14Balinnya mu ggulu, ne bakka nate mu ddubi:
Emmeeme yaabwe esaanuuka olw’ennaku.
27107:27 Yob 12:25Beesunda eruuyi n’eruuyi, era batagatta ng’omutamiivu,
N’amagezi gonna nga gababuze.
28Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe,
N’abaggya mu kweraliikirira kwabwe.
29107:29 Zab 65:7Alaaza omuyaga,
Amayengo gaagwo ne gateeka.
30Ne balyoka basanyuka kubanga bawummula;
N’alyoka abaleeta mu mwalo gwe baagala okutuukamu.
31Kale singa abantu batendereza Mukama olw’obulungi bwe,
N’olw’eby’amagero bye eri abaana b’abantu!
32107:32 Zab 22:22,25, Zab 36:5; 113:4Era bamugulumizenga mu kkuŋŋaaniro ery’abantu,
Era bamutenderezenga awali ekituuti eky’abakadde.
33107:33 Is 42:15; 50:2, Nak 1:4Afuula emigga eddungu,
N’enzizi azifuula ettaka ekkalu;
34107:34 Lub 13:10; 19:24,28Ensi ebala agifuula olukoola olw’omunnyo,
Olw’obubi bwabo abatuula omwo.
35107:35 Yob 38:26,27, Is 35:7; 41:18Eddungu alifuula ekidiba eky’amazzi,
N’ensi enkalu ensulo ez’amazzi.
36Omwo mw’atuuza abalumwa enjala,
Balongoosenga ekibuga eky’okutuulamu;
37Era basigenga ennimiro, basimbenga emizabbibu,
Beefunirenga ebibala eby’ekyengera.
38107:38 Lub 12:2Era n’abawa omukisa, n’okweyongera ne beeyongeranga nnyo;
N’ataganya nte zaabwe okukendeera.
39Nate, ne baweebuuka ne bajeezebwa
Olw’okujoogebwa, n’okweraliikirira, n’okunakuwala.
40107:40 Yob 12:21,24Anyoomesa nnyo abalangira,
Era abakyamiza mu nsiko omutali kkubo.
41107:41 1 Sam 2:8, Yob 21:11, Zab 113:7Era naye agulumiza omwavu okuva mu nnaku.
N’amukolera ebika ng’ekisibo.
42107:42 Yob 5:16; 22:19, Zab 63:11Abatuukirivu balibiraba, balisanyuka;
N’obutali butuukirivu bwonna buliziba akamwa kaabwo.
43107:43 Yer 9:12, Dan 12:10, Kos 14:9Buli alina amagezi anaalowoozanga ebyo,
Era banaafumiitirizanga okusaasira kwa Mukama.