
106
1106:1 1 Byom 16:34, Yer 33:11Mumutendereze Mukama. Kale mumwebaze Mukama; kubanga mulungi:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2Ani ayinza okwatula ebikolwa eby’amaanyi ebya Mukama,
Oba okwolesa ettendo lye lyonna?
3106:3 Zab 15:2Balina omukisa abakwata omusango,
N’oyo akola eby’obutuukirivu mu biro byonna.
4106:4 Zab 119:132Onjijukire, ai Mukama, n’ekisa ky’olina eri abantu bo;
Nkwegayiridde, onjijire n’obulokozi bwo:
5Ndabe abalonde bo nga balaba omukisa,
Nsanyukire essanyu ery’eggwanga lyo.
Neenyumirize wamu n’obusika bwo.
6106:6 Leev 26:40, 1 Bassek 8:47, Nek 1:6,7, Yer 14:20Twayonoona ffe ne bajjajjaffe,
Twakola ebitali bya butuukirivu, twakola obubi.
7106:7 Kuv 14:11,12, Zab 78:11Bajjajjaffe tebaategeera bya magero byo mu Misiri;
Ne batajjukira kusaasira kwo okungi;
Naye ne bajeemera ku nnyanja, ku Nnyanja Emmyufu.
8106:8 Kuv 9:16, Ez 20:9Era naye n’abalokola olw’erinnya lye,
Amanyise obuyinza bwe obungi.
9106:9 Kuv 14:21, Is 51:10; 63:13Era n’anenya Ennyanja Emmyufu, n’ekalira:
Awo n’abayisa mu buziba, nga mu ddungu.
10106:10 Kuv 14:30, Zab 107:2N’abalokola eri omukono gw’oyo eyabakyawa,
N’abanunula mu mukono gw’omulabe.
11106:11 Kuv 14:28Amazzi ne gabikka ku balabe baabwe:
Ne watasigalawo n’omu.
12106:12 Kuv 14:31; 15:1-21Ne balyoka bakkiriza ebigambo bye;
Ne bayimba okumutendereza.
13106:13 Kuv 15:24; 16:2, Zab 107:11Beerabira mangu emirimu gye;
Tebaalindirira kuteesa kwe:
14106:14 Kuv 17:2, Kubal 11:4, 1 Kol 10:6,9Naye ne beegombera nnyo mu lukoola,
Ne bakemera Katonda mu ddungu.
15106:15 Zab 78:29, Is 10:16, 1 Byom 16:34, Yer 33:11N’abawa bye baasaba;
Naye n’aleeta obukovvu mu mmeeme yaabwe.
16106:16 Kubal 16:1-3Era obuggya ne bubakwatira Musa mu lusiisira,
Ne Alooni omutukuvu wa Mukama.
17106:17 Kubal 16:31,32Ensi n’eyasama n’emira Dasani.
N’ebikka ku kibiina kya Abiraamu.
18106:18 Kubal 16:35Omuliro ne gwaka mu kibiina kyabwe;
Ennimi zaagwo ne zookya ababi.
19106:19 Kuv 32:4, Bik 7:41Ne bakolera ennyana mu Kolebu,
Ne basinza ekifaananyi ekisaanuuse.
20106:20 Yer 2:11, Bar 1:23Bwe batyo ne bawaanyisa ekitiibwa kyabwe
Okuba ekifaananyi ky’ente erya omuddo.
21106:21 Zab 78:11,43Ne beerabira Katonda omulokozi waabwe,
Eyakolera ebikulu mu Misiri;
22Eby’amagero mu nsi ya Kaamu,
N’eby’entiisa ku Nnyanja Emmyufu.
23106:23 Kuv 32:10,11, Ma 9:14,18, Ez 20:13Kyeyava ayogera ng’alibazikiriza,
Singa Musa omulonde we teyayimirira mu maaso ge mu kituli,
Okuzzaayo obusungu bwe, aleme okubazikiriza.
24106:24 Kubal 14:31, Ma 9:23, Beb 3:18,19Weewaawo, baanyooma ensi ey’okwesiima,
Tebakkiriza kigambo kye;
25106:25 Kubal 14:2Naye ne beemulugunya mu weema zaabwe,
Ne batawulira ddoboozi lya Mukama.
26106:26,27 Kubal 14:30, Ez 20:23Kyeyava ayimusa omukono gwe gye bali,
Ng’alibasuulira mu ddungu:
27Era ng’aligwisa ezzadde lyabwe mu mawanga,
Era ng’alibasaasaanya mu nsi.
28106:28 Kubal 25:2,3, Kos 9:10, Kub 2:14Era ne beegatta ne Baalipyoli,
Ne balya ssaddaaka ez’abafu.
29106:29,30 Kubal 25:7,8Bwe batyo bwe baamusunguwazanga n’ebikolwa byabwe;
Kawumpuli n’agwa mu bo.
30Finekaasi n’alyoka ayimirira n’atuukiriza omusango:
Kawumpuli n’aziyizibwa bw’atyo.
31106:31 Kubal 25:10-13Ekyo ne kimubalirwa okuba obutuukirivu,
Okutuusa emirembe gyonna egitaliggwaawo.
32106:32 Kubal 20:2-13Era ne bamunyiiriza ku mazzi ag’e Meriba,
N’okulaba Musa n’alaba obubi ku lwabwe:
33Kubanga baali baagala okujeemera omwoyo gwe,
N’ayogera ebitali bya magezi
n’emimwa gye.
34106:34 Ma 7:2, Balam 1:21,27-36Tebaazikiriza mawanga,
Nga Mukama bye yabalagira;
35106:35 Balam 3:5,6, Ezer 9:2, Is 2:6Naye ne beegatta n’amawanga,
Ne bayiga emirimu gyabwe:
36106:36 Balam 2:12,13, 2 Bassek 17:7-12Ne baweereza ebifaananyi byabwe;
Ebyabafuukira ekyambika.
37106:37 Ma 32:17, 2 Bassek 17:17, Is 57:5, Ez 16:20,21, 1 Kol 10:20Weewaawo, baawangayo batabani baabwe ne bawala baabwe eri bassetaani.
38106:38 Kubal 35:33Ne bayiwa omusaayi ogutaliiko kabi,
gwe musaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe,
Be baawangayo eri ebifaananyi bya Kanani;
Ensi n’eyonooneka n’omusaayi.
39106:39 Ez 20:18,30,31Bwe batyo ne babaako empitambi olw’emirimu gyabwe,
Ne bagenda bayenda mu bikolwa byabwe.
40106:40,41 Balam 2:14, Nek 9:27, Zab 78:59,62Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuuka eri abantu be,
N’atamwa obusika bwe.
41N’abawaayo mu mukono gw’amawanga;
N’abo abaabakyawa ne babafuga.
42106:42 Balam 4:3; 10:12Era abalabe baabwe ne babajooga,
Ne bajeemulwa wansi w’omukono gwabwe.
43106:43 Leev 26:39, Balam 2:16, Zab 81:12; 107:11Emirundi emingi yabawonya;
Naye ne baagala okujeema mu kuteesa kwabwe,
Ne bajeezebwa mu butali butuukirivu bwabwe.
44106:44 Balam 3:9; 6:6Era naye n’atunuulira ennaku zaabwe,
Bwe yawulira okukaaba kwabwe:
45106:45 Leev 26:42, Zab 90:13, Kung 3:32N’abajjuukirira endagaano ye,
Ne yejjusa ng’okusaasira kwe bwe kuli okungi.
46106:46 Ezer 9:9, Yer 42:12Era n’ababasaasiza
Bonna abaabatwalanga mu busibe.
47106:47,48 1 Byom 16:35,36106:47 Zab 107:3Otulokole, ai Mukama Katonda waffe,
Otukuŋŋaanye tuve mu mawanga,
Okwebazanga erinnya lyo ettukuvu,
N’okujagulizanga ettendo lyo.
48Yeebazibwenga Mukama, Katonda wa isiraeri,
Okuva emirembe gyonna okutuuka mu mirembe gyonna.
Era abantu bonna boogere nti Amiina.
Mumutendereze Mukama.