
105
1105:1 Is 12:4105:1-15 1 Byom 16:8-22Mumwebazenga Mukama, Mukaabirenga erinnya lye;
Mumanyisenga ebikolwa bye mu mawanga.
2Mumuyimbirenga, muyimbenga okumutendereza;
Mwogerenga ku by’amagero bye byonna.
3Mwenyumirizenga olw’erinnya lye ettukuvu:
Omutima gw’abo abanoonya Mukama gusanyukenga.
4105:4 Zab 27:8Munoonyenga Mukama n’amaanyi ge;
Munoonyenga amaaso ge ennaku zonna.
5105:5 Kuv 6:6, Zab 77:11Mujjukirenga eby’amagero bye bye yakola;
Eby’ekitalo bye, n’emisango egy’akamwa ke;
6105:6 Zab 105:42Mmwe ezzadde lya Ibulayimu omuddu we,
Mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
7105:7 Is 26:9Oyo ye Mukama Katonda waffe:
Emisango gye gibuna ensi zonna.
8105:8 Ma 7:9, Zab 111:5,9, Luk 1:72Ajjukira endagaano ye ennaku zonna.
Ekigambo kye yalagira emirembe olukumi;
9105:9 Lub 17:2; 22:16-18; 26:3, Luk 1:73Endagaano gye yalagaana ne Ibulayimu,
N’ekirayiro kye yalayirira Isaaka;
10105:10 Lub 28:13,14; 35:10-12N’ekyo naakinyweza eri Yakobo okuba etteeka,
Eri Isiraeri, okuba endagaano eteriggwaawo:
11105:11 Lub 13:15; 15:18Ng’ayogera nti Ggwe ndiwa ensi ya Kanani,
Omugabo ogw’obusika bwammwe:
12105:12 Lub 34:30, Beb 11:9Bwe baali abantu abatono omuwendo gwabwe:
Weewaawo, abatono ennyo, era abo batambuze omwo;
13Ne batambulatambula mu mawanga agatali gamu,
Nga bava mu bwakabaka ne baggukira mu bantu abalala.
14105:14 Lub 12:17; 35:5Teyaganya muntu kuboonoona;
Weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe;
15105:15 Lub 20:6,7Ng’ayogera nti Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta,
So temukolanga bubi bannabbi bange.
16105:16 Lub 41:54, Ez 4:16N’ayita enjala okugwa ku nsi;
N’amenya omuggo gwabwe gwonna, ye mmere yaabwe.
17105:17 Lub 37:28,36; 45:5, Bik 7:9Yabakulembeza omuntu;
Yusufu yatundibwa okuba omuddu:
18105:18 Lub 39:20Ebigere bye baabirumya enjegere;
Yagalamira ng’asibiddwa n’ebyuma:
19105:19 Lub 40:20-22Okutuusa ekigambo kye lwe kyatuukirira;
Ekigambo kya Mukama kyamukemanga.
20105:20 Lub 41:14Kabaka yatuma n’amusumulula;
Ye yafuga amawanga, n’amuteera ddala.
21105:21 Lub 41:40N’amufuula omukulu w’ennyumba ye,
N’amuteresa ebintu bye byonna:
22Okusiba abalangira be bw’ayagala,
N’okuyigiriza amagezi abakadde be.
23105:23 Lub 46:6; 47:11, Bik 7:15; 13:17Era ne Isiraeri n’ajja mu Misiri;
Yakobo n’atuula mu nsi ya Kaamu.
24105:24 Kuv 1:7, Bik 7:17N’ayongera nnyo abantu be,
N’abawa amaanyi okusinga abalabe baabwe.
25105:25 Kuv 1:8-14, Bik 7:19N’akyusa omutima gwabwe okukyawa abantu be,
Okukuusakuusa abaddu be.
26105:26 Kuv 3:10; 4:12, Kub 17:5-8N’atuma Musa omuddu we,
Ne Alooni gwe yalonda.
27105:27-36 Zab 78:43-51Ne bassa mu bo obubonero bwe,
N’eby’amagero mu nsi ya Kaamu.
28105:28 Kuv 10:21-23, Zab 99:7N’aleeta ekizikiza, ekizikiza ne kikwata;
Ne bajeemera ebigambo bye.
29105:29 Kuv 7:17-21N’afuula amazzi gaabwe omusaayi,
N’atta ebyennyanja byabwe.
30105:30 Kuv 8:2-6Ensi yaabwe n’ejjula ebikere,
Mu nju za bakabaka baabwe.
31105:31 Kuv 8:16,17,21-24N’ayogera, ebitole eby’ensowera ne bijja,
N’ensekere mu nsalo zaabwe zonna.
32105:32,33 Kuv 9:22-25N’abawa omuzira mu kifo ky’enkuba,
N’omuliro ogwaka mu nsi yaabwe.
33Era n’akuba n’emizabbibu n’emitiini gyabwe;
N’amenya emiti egy’omu nsalo zaabwe.
34105:34,35 Kuv 10:12-15N’ayogera, enzige ne zijja,
N’obuwuka, era ebyo tebyabalikika omuwendo gwabyo,
35Ne birya buli muddo ogwali mu nsi yaabwe,
Ne birya ebibala eby’ettaka lyabwe.
36105:36 Kuv 12:29, Zab 78:51Era n’akuba n’ababereberye bonna abaali mu nsi yaabwe,
Abaali basinga amaanyi mu bazira baabwe bonna.
37105:37 Kuv 12:35,36N’abaggyamu nga balina effeeza n’ezaabu:
So tewaali muntu munafu omu mu bika bye.
38105:38 Kuv 12:33; 15:16Misiri n’esanyuka bwe baagenda;
Kubanga entiisa yaabwe yali ebaguddeko.
39105:39 Kuv 13:21, Is 4:5, 1 Kol 10:1N’ayanjuluza ekire okubabikkangako;
N’omuliro gubaakirenga ekiro.
40105:40 Kuv 16:12-15, Zab 78:24,27, Yok 6:31Ne basaba, n’aleeta obugubi,
N’abakkusa emmere ey’omu ggulu.
41105:41 Kuv 17:6, Kubal 20:11, Is 48:21, 1 Kol 10:4N’ayasa ejjinja, amazzi ne gatiiriika;
Ne gakulukuta mu bifo ebikalu ng’omugga.
42105:42 Lub 15:14, Kuv 2:24, Zab 105:6-9Kubanga yajjukira ekigambo kye ekitukuvu,
Ne Ibulayimu omuddu we.
43105:43 Kuv 15:1N’aggyamu abantu be n’essanyu,
N’abalonde be n’okuyimba.
44105:44 Yos 11:23; 24:13, Zab 78:55N’abawa ensi ez’amawanga;
Ne batwala ne balya emirimu egy’amawanga:
45105:45 Ma 4:1,40, Zab 104:35Balyoke bakwatenga ebiragiro bye,
Beekuumenga amateeka ge.
Mumutendereze Mukama.