
103
Zabbuli ya Dawudi.
1103:1 Zab 104:1Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
Ne byonna ebiri munda yange, mwebaze erinnya lye ettukuvu.
2103:2 Ma 6:12Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,
So teweerabira birungi bye byonna:
3103:3 Kuv 15:26; 34:7, Is 33:24, Yer 17:14, Mak 2:5, Luk 7:47Asonyiwa ebikolwa byo byonna ebitali bya butuukirivu;
Awonya endwadde zo zonna;
4103:4 Zab 56:13Anunula obulamu bwo buleme okuzikirira;
Akussaako engule ey’ekisa n’okusaasira okulungi:
5103:5 Zab 107:9, Is 40:31Akkusa akamwa ko ebirungi;
Obuvubuka bwo ne budda obuggya ng’empungu.
6103:6 Zab 146:7Mukama akola eby’obutuukirivu,
Atuukiriza emisango ku lw’abo bonna abajoogebwa.
7103:7 Kuv 33:13; 34:10Yamanyisa Musa amakubo ge,
N’ebikolwa bye eri abaana ba Isiraeri.
8103:8 Zab 86:15Mukama ajjudde okusaasira n’ekisa,
Alwawo okusunguwala, alina
okusonyiwa okungi.
9103:9 Is 57:16, Yer 3:5,12, Mi 7:18Taanenyenga ennaku zonna;
So taabenga na busungu mirembe gyonna.
10103:10 Ezer 9:13Tatukoze ng’ebibi byaffe bwe biri,
So tatusasudde ng’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11103:11 Zab 117:2, Luk 1:50Kuba eggulu nga bwe liri waggulu okusinga ensi,
N’okusaasira kwe bwe kuli okungi bwe kutyo eri abo abamutya.
12103:12 Is 38:17, Mi 7:19Ebuvanjuba n’ebugwanjuba bwe biri ewala,
Bw’atyo bw’atutadde ewala ebyonoono byaffe.
13103:13 Mal 3:17Nga kitaabwe bw’asaasira abaana be,
Ne Mukama bw’asaasira bw’atyo abamutya.
14103:14 Lub 3:19, Zab 78:39, Mub 12:7Kubanga amanyi omubiri gwaffe;
Ajjukira nga ffe tuli nfuufu.
15103:15 Yob 14:2, Zab 90:5Omuntu, ennaku ze ziri ng’omuddo;
Ng’ekimuli eky’omu nsiko, bw’ayera bw’atyo.
16103:16 Yob 7:10, Is 40:7Kubanga empewo zikikuntako, ne kiba nga kigenze;
N’ekifo kyakyo tekirikimanya nate.
17Naye okusaasira kwa Mukama kwava mu mirembe gyonna era kulituuka mu mirembe gyonna eri abamutya,
N’obutuukirivu bwe eri abaana b’abaana;
18103:18 Ma 7:9Eri abo abakwata endagaano ye,
N’eri abo abajjukira ebiragiro bye okubikola.
19103:19 Zab 47:2; 93:2, Dan 4:7Mukama yanyweza entebe ye mu ggulu;
N’obwakabaka bwe bufuga byonna.
20103:20 Zab 148:2, Mat 6:10, Luk 2:13Mumwebaze Mukama, mmwe bamalayika be:
Mmwe abazira ab’amaanyi, abatuukiriza ekigambo kye,
Nga muwulira eddoboozi ery’ekigambo kye.
21103:21 Lub 32:2, Dan 7:10, Beb 1:14Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna eggye lye;
Abaweereza be, abakola by’ayagala.
22103:22 Zab 103:1; 145:10Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna emirimu gye,
Mu bifo byonna by’afugiramu:
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.