
102
Okusaba kw’oyo aliko obuyinike, nga bwagala okumutta, n’afuka okwemulugunya kwe mu maaso ga Mukama.
1102:1 Kuv 2:23, Zab 39:12Wulira okusaba kwange, ai Mukama,
Okukaaba kwange kutuuke gy’oli.
2Tonkisa maaso go ku lunaku olw’okunakuwala kwange:
Otege okutu kwo we ndi;
Ku lunaku lwe nkoowoolerako ompitabe mangu.
3102:3 Kung 1:3, Yak 4:14Kubanga ennaku zange ziggwaawo ng’omukka,
N’amagumba gange gookebwa ng’omumuli.
4102:4 2 Sam 12:17, Is 40:7, Yak 1:10,11Omutima gwange gwokeddwa, guwotose ng’omuddo;
Kubanga neerabira okulya emmere yange.
5102:5 Yob 19:20Olw’eddoboozi eryokusinda kwange
Amagumba gange geegasse n’omubiri gwange.
6102:6 Is 34:11, Zef 2:14Nninga kimbala ow’omu ddungu;
Nfuuse ng’ekiwuugulu eky’omu nsiko.
7Ntunula, era nfuuse
Ng’enkazaluggya etuula ku kitikkiro yokka.
8102:8 Bik 26:11Abalabe bange bazibya obudde okunvuma;
Abandalukidde bandayira.
9102:9 Zab 42:3Kubanga ndidde evvu ng’omugaati,
Era ntabudde kye nnywedde n’amaziga.
10Olw’okunyiiga kwo n’obusungu bwo:
Kubanga wannonda n’onsuula.
11102:11 Zab 109:23Ennaku zange ziri ng’ekisiikirize ekiggwaawo;
Era mpotose ng’omuddo.
12102:12 Kuv 3:15, Zab 135:13Naye ggwe, ai Mukama, onoobeereranga ennaku zonna:
N’ekijjukizo kyo okutuusa emirembe gyonna.
13102:13 Is 60:10, Yer 29:10, Zek 1:12Oligolokoka, olisaasira Sayuuni:
Kubanga obudde butuuse okumusaasira,
Weewaawo, obudde obwalagirwa butuuse.
14102:14 Nek 4:2Kubanga abaddu bo basanyukira amayinja ge,
Era basaasira enfuufu ye.
15102:15 1 Bassek 8:43, Zab 138:4, Is 60:3Bwe gatyo amawanga gonna galitya erinnya lya Mukama,
Ne bakabaka bonna ab’ensi balitya ekitiibwa kyo:
16102:16 Zab 147:2, Is 60:1,2Kubanga Mukama azimbidde ddala Sayuuni,
Alabikidde mu kitiibwa kye;
17Olowoozezza okusaba kw’abo abafiiriddwa,
So tanyoomye kusaba kwabwe.
18102:18 Zab 22:31, Is 43:21, Bar 15:4, 1 Kol 10:11Ekyo kiriwandiikirwa emirembe egirijja:
N’eggwanga eriritondebwa liritendereza Mukama.
19102:19 Ma 26:15, Zab 14:2Kubanga atunuulidde wansi ng’ayima ku watukuvu we awagulumivu;
Mukama yalaba ensi ng’ayima mu ggulu;
20102:20 Zab 79:11Okuwulira okusinda kw’omusibe;
Okusumulula abo abateekerwawo okufa;
21102:21 Zab 22:22Abantu balyoke batenderenga erinnya lya Mukama mu Sayuuni,
N’ettendo lye mu Yerusaalemi;
22102:22 Zab 22:27Amawanga bwe galikuŋŋaana awamu,
N’amatwale, okuweereza Mukama.
23102:23 Zab 89:45Yakendeeza ku maanyi gange mu kkubo;
Yasala ku nnaku zange.
24102:24 Yob 36:26, Zab 90:2, Is 38:10Ne njogera nti Ai Katonda wange, tontwalira ddala ng’ennaku zange tezinnaggwaawo:
Emyaka gyo gibeerera emirembe gyonna.
25102:25 Lub 1:1, Yob 38:4-7, Is 42:5102:25-27 Beb 1:10-12Edda n’edda watandika ensi;
N’eggulu gwe mulimu gw’emikono gyo.
26102:26 Is 34:4; 51:6, Mat 24:35, Kub 20:11Ebyo biriggwaawo, naye ggwe onoobeereranga:
Weewaawo, ebyo byonna birikaddiwa ng’ekyambalo;
Olibiwaanyisa ng’ekyambalo, n’ebyo biriwaanyisibwa:
27102:27 Is 41:4, Mal 3:6, Yak 1:17Naye ggwe oba bumu,
N’emyaka gyo tegirikoma.
28102:28 Zab 37:29; 69:36Abaana b’abaddu bo banaabeerangawo.
N’ezzadde lyabwe linaanywezebwanga mu maaso go.