
101
Zabbuli ya Dawudi.
1101:1 Kuv 34:7Naayimbanga ku kusaasira ne ku musango:
Ggwe, ai Mukama, gwe nnaayimbiranga okutendereza.
2101:2 1 Sam 18:14, 1 Bassek 9:4, Nge 11:20, Yok 14:23Naatambuliranga n’amagezi mu
kkubo ettuukirivu:
Woowe, olijja gye ndi ddi?
Naatambuliranga mu nnyumba yange n’omutima ogutuukiridde.
3101:3 1 Sam 12:20Siiteekenga kintu kyonna ekitasaana mu maaso gange:
Nkyawa omulimu gw’abo abakyama;
Tegwegattenga nange.
4101:4 Nge 17:20, 2 Tim 2:19Omutima ogutawulira gulindekera ddala:
Sirimanya kintu kyonna kibi.
5101:5 Nge 16:5; 21:4Awaayiririza munne mu kyama, oyo n’azikirizanga:
Alina amaaso ageegulumiza n’omutima ogw’amalala siimugumiikirizenga.
6101:6 Zab 119:1, Mat 5:48Amaaso gange ganaatunuuliranga abeesigwa ab’omu nsi, batuulenga wamu nange:
Atambulira mu kkubo ettuukirivu ye anampeerezanga.
7Akola eby’obulimba talituula mu nnyumba yange:
Ayogera ebitali bya mazima talinywera mu maaso gange.
8101:8 Zab 46:4; 94:4Buli nkya naazikirizanga ababi bonna ab’omu nsi;
Mmalewo bonna abakola ebitali bya butuukirivu baggweewo mu kibuga kya Mukama.