
100
Zabbuli ey’okwebaza.
1100:1,2 Zab 66:1; 95:1,2Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu, mmwe ensi zonna.
2Mumuweereze Mukama n’essanyu:
Mujje mu maaso ge n’okuyimba.
3100:3 1 Bassek 18:39, Yob 10:8,9, Is 43:1, Ez 34:30,31, Bef 2:10Mumanye nga Mukama ye Katonda:
Oyo ye yatutonda, naffe tuli babe;
Tuli bantu be, era endiga ez’omu ddundiro lye.
4Muyingire mu miryango gye
n’okwebaza,
Ne mu mpya ze n’okutendereza.
Mumwebaze, mukuze erinnya lye.
5100:5 Zab 25:8; 106:1Kubanga Mukama mulungi; okusaasira kwe kwa lubeerera;
N’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.
All rights reserved – The Bible Society of Uganda