
10
110:1 Zab 13:1; 22:11Kiki ekikuyimirizisizza ewala, ai Mukama?
Kiki ekikwekwesezza mu biro eby’ennaku?
210:2 Nge 5:22Mu malala ag’omubi omwavu ayigganyizibwa nnyo:
Bakwatibwe mu nkwe ze baateesa.
3Kubanga omubi yeenyumiriza olw’okwegomba kw’omutima gwe,
N’omukodo yeegaana, era anyooma Mukama.
410:4 Zab 14:1; 53:1Omubi mu malala ag’amaaso ge ayogera nti Talivunaana.
Ebirowoozo bye byonna nti Tewali Katonda.
5Amakubo ge makakanyavu ennaku zonna;
Emisango gyo giri waggulu nnyo gy’atayinza kugirabira:
Abalabe be bonna abasooza.
610:6 Kub 18:7Ayogera mu mutima gwe nti Sirisagaasagana:
Okutuusa emirembe gyonna siriraba nnaku.
710:7 Yob 20:12, Bar 3:14Akamwa ke kajjudde okukolima n’okulimba n’okujooga:
Wansi w’olulimi lwe waliwo ettima n’obutali butuukirivu:
8Atuula mu mateegero ag’ebyalo:
Mu bwekweko atta abatalina misango:
Amaaso ge agatunuuliza ku munafu mu kyama.
910:9 Yob 38:40, Zab 17:12, Mi 7:2Yeekweka mu tteegero ng’empologoma mu mpuku yaayo:
Yeekisa okukwata omwavu:
Akwatira ddala omwavu, ng’amuwalulira mu kyambika kye.
10Akutama, akootakoota,
Abasajja be ab’amaanyi ne basuula abanafu.
1110:11 Yob 22:13, Zab 94:7, Ez 9:9Ayogera mu mutima gwe nti
Katonda yeerabidde:
Akweka amaaso ge; tagenda kukiraba.
1210:12 Zab 3:7; 9:12,18Golokoka, ai Mukama; ai Katonda oyimuse omukono gwo:
Teweerabira mwavu.
13Lwaki omubi okunyoomanga Katonda,
N’okwogera mu mutima gwe nti Tolivunaana?
1410:14 Zab 33:13; 146:9, 1 Peet 4:19Walaba; kubanga otunuulira ettima n’obukyayi, okussaako omukono gwo:
Omunafu yeewaayo gy’oli;
Wabanga omubeezi w’abo abataliiko kitaabwe.
1510:15 Zab 37:17, Is 41:12Menya omukono gw’omubi;
Omuntu omubi onoonyeze ddala obubi bwe okutuusa obutabusangamu.
1610:16 Kuv 15:18, Zab 29:10, Kub 11:15Mukama ye kabaka emirembe n’emirembe:
Amawanga gazikiridde mu nsi ye.
1710:17 1 Byom 29:18Mukama, wawulira abawombeefu kye bayagala:
Onooteekateekanga omutima gwabwe, onoowulizanga okutu kwo:
1810:18 Zab 9:19; 82:3, Is 1:17Okusalira omusango abataliiko kitaabwe n’abajoogebwa.
Omuntu, ye w’omu nsi, aleke okubeera n’entiisa.