
1
EKITABO 1
11:1Nge 4:14; 21:24Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw’ababi,
Newakubadde okuyimirira mu kkubo ly’abo abalina ebibi,
Newakubadde okutuula ku ntebe y’abanyooma.
21:2 Yos 1:8, Zab 119:47,97, Bar 7:22Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa;
Era mu mateeka ge mw’alowooleza emisana n’ekiro.
31:3 Lub 39:3,23, Ez 47:12Naye alifaanana ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’ensulo ez’amazzi,
Ogubala emmere yaagwo mu ntuuko zaayo,
Era amalagala gaagwo tegawotoka;
Na buli ky’akola, akiweerwako omukisa.
41:4 Yob 21:18Ababi si bwe batyo;
Naye bali ng’ebisusunku, empewo bye zifuumuula.
51:5 Zab 5:5Ababi kyebaliva balema okuyimirira mu musango,
Newakubadde abalina ebibi mu kkuŋŋaaniro ly’abatuukirivu.
61:6 Nak 1:7, Yok 10:4Kubanga Mukama amanyi ekkubo ly’abatuukirivu:
Naye ekkubo ly’ababi liribula.