
9
19:1 Mat 16:18, Bef 2:20-22Amagezi gazimbye ennyumba yaago,
Gatemye empagi zaago musanvu:
29:2 Zab 23:5, Mat 22:4, Luk 14:17Gasse ensolo zaago; gatabudde omwenge gwago;
Era gategese emmeeza yaago.
39:3 Nge 8:1,2, Mat 22:3Gasindise abawala baago, googerera waggulu
Ku bifo eby’omu kibuga ebisinga obugulumivu,
49:4 Nge 6:32Nti Buli atalina magezi akyamire muno:
Oyo abulwa okutegeera gamugamba nti
59:5 Lu 8:2, Is 55:1, Yok 6:27Mujje mulye ku mmere yange,
Era munywe ku mwenge gwe ntabudde.
6Mulekenga, mmwe abatalina magezi, mubeerenga abalamu;
Era mutambulirenga mu kkubo ery’okutegeera.
79:7,8 Zab 141:5, Mat 7:6Anenya omukudaazi yeeswaza:
N’oyo abuulirira omubi yeetonnyezaako ebbala.
8Tobuuliriranga mukudaazi aleme okukukyawa:
Buuliriranga ow’amagezi, anaakwagalanga.
99:9 Mat 13:12Yigirizanga ow’amagezi, aneeyongeranga okuba n’amagezi:
Yigirizanga omutuukirivu, aneeyongeranga okuyita.
109:10 Nge 1:7Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera:
N’okumanya oyo Omutukuvu kwe kutegeera.
119:11 Nge 3:2Kubanga ku bwange ennaku zo ziryongerwa,
N’emyaka egy’obulamu bwo girisukkirizibwa.
129:12 Yob 22:2; 35:7Oba nga olina amagezi, weebeera n’amagezi wekka:
Era bw’onoonyoomanga, kuliba ku ggwe wekka.
139:13-18 Nge 7:7-27Omukazi omusirisiru aleekaana;
Talina magezi, so taliiko ky’amanyi.
14Era atuula ku mulyango gw’ennyumba ye,
Ku ntebe mu bifo eby’omu kibuga ebigulumivu,
15Okuyita abo abayitawo,
Abakwatira ddala amakubo gaabwe,
169:16 Nge 9:4Nti Buli atalina magezi akyamire muno:
N’oyo abulwa okutegeera amugamba nti
179:17 Nge 20:17Amazzi amabbe ge gawooma,
N’emmere eriirwa mu kyama ye esanyusa.
189:18 Nge 7:27Naye tamanyi ng’abafu bali eyo:
Ng’abagenyi be bali mu buziba bw’emagombe.