
8
18:1-3 Nge 1:20,21; 9:3Amagezi tegoogerera waggulu
N’okutegeera tekuleeta ddoboozi lyakwo?
2Enguudo we zisibuka mu kkubo
Mu masaŋŋanzira we gayimirira;
3Ku mabbali g’emiryango awayingirirwa mu kibuga,
Abantu we bayingirira awali enzigi googerera waggulu:
4Mmwe abasajja, mbakoowoola;
N’eddoboozi lyange liri eri abaana b’abantu.
5Mmwe abatalina magezi, mutegeerenga obukabakaba;
Nammwe, abasirusiru, mubeerenga n’omutima ogutegeera.
6Muwulire, kubanga naayogera ebigambo ebirungi ennyo;
N’okwasama emimwa gyange kunaavaamu eby’ensonga.
78:7 Zab 37:30Kubanga akamwa kange kanaayogera eby’amazima;
N’obubi bwa muzizo eri emimwa gyange.
8Ebigambo byonna eby’omu kamwa kange biri mu butuukirivu;
Mu byo temuli kintu ekikyamakyama newakubadde ekyenyodde.
98:9 Nge 14:6Byonna byangu eri oyo ategeera,
Era bya nsonga eri abo abalaba okumanya.
108:10,11 Zab 119:72,127, Nge 3:14Mukkirize okuyigiriza kwange so si ffeeza;
N’okumanya okukira zaabu ennonde.
11Kubanga amagezi gasinga amayinja amatwakaavu;
N’ebintu byonna ebiyinzika okwegombebwa tebyenkanyankanyizibwa nago.
12Nze amagezi nfudde obukabakaba okuba ennyumba yange
Era nnoonya okumanya n’okuteesa.
138:13 Zab 97:10, Nge 16:5,6Okutya Mukama kwe kukyawa obubi;
Amalala n’essukuti n’ekkubo ebbi
N’akamwa akabambaavu bye nkyawa.
148:14 Mub 7:19, Is 11:2Okuteesa kwange n’okumanya okutuufu:
Nze ndi kutegeera; nnina amaanyi.
158:15,16 Bar 13:1Ku bwange bakabaka bafuga,
Abalangira ne bateeka eby’obutuukiruvu.
16Ku bwange abalangira bafuga,
N’abakungu, abalamuzi bonna ab’oku nsi.
178:17 1 Sam 2:30, Zab 91:14, Yok 14:21, Yak 1:5Njagala abo abanjagala;
N’abo abanyiikira okunnoonya balindaba.
188:18 Zab 112:3, Nge 3:16, Mat 6:33Obugagga n’ekitiibwa biri nange;
Weewaawo, obugagga obw’enkalakkalira n’obutuukirivu.
198:19 Yob 28:15Ebibala byange bisinga zaabu obulungi, weewaawo, zaabu ennungi;
N’amagoba gange gakira ffeeza ennonde.
20Ntambulira mu kkubo ery’obutuukirivu,
Wakati mu mpenda ez’okusala emisango:
21Ndyoke mpe abo abanjagala okusikira ebintu,
Era njijuze amawanika gaabwe.
228:22 Zab 104:24, Nge 3:19, Yok 1:1, Bak 1:16,17Mukama yali nange ekkubo lye we lyasookera,
Okusooka emirimu gye egy’edda.
238:23 Yob 15:7, Zab 90:2Nateekebwawo okuva emirembe n’emirembe, okuva ku lubereberye,
Ensi nga tennabaawo.
24Nga tewannabaawo buziba, nazaalibwa;
Ensulo ezijjudde amazzi nga tezinnabaawo.
25Ensozi nga tezinnaba kussibwawo,
Nasooka obusozi okuzaalibwa:
26Ye nga tannatonda nsi newakubadde ennimiro,
Newakubadde enfuufu ey’ensi eyasooka.
27Bwe yanyweza eggulu, nze naliyo:
Bwe yakulunga amaaso g’obuziba:
288:28 Lub 1:6Bwe yanyweza eggulu waggulu:
Ensulo ez’ennyanja bwe zaafuuka ez’amaanyi:
298:29 Lub 1:9,10, Yob 26:10, Zab 104:5Bwe yawa ennyanja ensalo yaayo,
Amazzi galemenga okusobya ekiragiro kye:
Bwe yalamba emisingi gy’ensi:
308:30 Yok 1:1,2Kale nze nga ndi awo gy’ali ng’omukoza:
Era bulijjo yansanyukiranga,
Nga njaguliza bulijjo mu maaso ge;
318:31 Zab 16:3; 104:31, Is 45:18Nga nsanyukira ensi ye ebeerekamu;
N’essanyu lyange lyali n’abaana b’abantu.
328:32 Zab 128:1, Luk 11:28Kale nno, baana bange, mumpulirenga:
Kubanga balina omukisa abakwata amakubo gange.
33Muwulirenga okuyigirizibwa mubenga n’amagezi,
So temugagaananga.
348:34 Nge 3:13Alina omukisa omuntu ampulira,
Ng’atunuulira bulijjo ku nzigi zange,
Ng’alinda awali emifuubeeto gy’enzigi zange.
358:35 Nge 3:18; 4:22, Yok 1:4; 17:3Kubanga buli alaba nze alaba bulamu,
Era alifuna okuganja eri Mukama.
368:36 Nge 15:32; 21:6Naye oyo annyonoona asobya obulamu bwe ye:
Bonna abakyawa nze baagala okufa.