
7
1Mwana wange, okwatanga ebigambo byange,
Oterekanga ebiragiro byange ewuwo.
27:2 Ma 32:10, Nge 4:4Okwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu;
N’etteeka lyange ng’emmunye ey’eriiso lyo.
37:3 Ma 6:8, Nge 3:3Bisibenga ku mukono gwo;
Biwandiikenga ku bipande eby’omutima gwo.
4Gambanga amagezi nti Ggwe mwannyinaze;
Oyitenga okutegeera ow’ekika kyammwe:
57:5 Nge 6:32Bikukuumenga eri omukazi omugenyi,
Eri omugenyi anyumiriza n’ebigambo bye.
6Kubanga nalingiza mu ddirisa ery’ennyumba yange
Mu mulimu omuluke ogw’omu ddirisa;
7Ne ndaba mu batalina magezi,
Ne ntegereza mu balenzi,
Omuvubuka atalina kutegeera,
8Ng’ayita mu luguudo kumpi ku mugguukiriro gwe,
N’agenda mu kkubo eridda mu nnyumba ye;
97:9 Yob 24:15Mu kizikiza, obudde nga buwungedde;
Mu kizikiza eky’ekiro zigizigi.
10Kale, laba, ne wamusisinkana omukazi
Ng’ayambadde ebyambalo eby’omwenzi, era ow’omutima omugerengetanya.
117:11 1 Tim 5:13Muyombi era mukakanyavu;
Ebigere bye tebibeera mu nnyumba ye:
12Oluusi aba mu nguudo, oluusi mu bifo ebigazi,
Era ateegera ku buli mugguukiriro.
13Awo n’amukwata n’amunywegera,
N’amugamba ng’amusimbye amaaso nti
147:14 Leev 7:11, Zab 50:14Ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe ziri wange;
Leero mmaze okusasula obweyamo bwange.
15Kyenvudde nfuluma okukusisinkana,
Okunyiikira okunoonya amaaso go, era nkulabye.
167:16 Nge 31:22, Is 19:9Njaze ekitanda kyange n’amagodooli,
N’engoye ez’amakuubo eza ppamba w’e Misiri.
177:17 Zab 45:8Mpunyisizza bulungi ekiriri kyange
N’obubaane n’omugavu n’eby’akaloosa.
18Jjangu tukkute okwagala okukeesa obudde;
Twesanyuse n’okwagala.
19Kubanga baze tali ka,
Yatambula lugendo lwa wala:
20Yagenda ng’atwala ensawo eya ffeeza;
Alikomawo omwezi nga gwa ggabogabo.
217:21 Zab 12:2Amukkirizisa n’ebigambo bye ebirungi bingi,
Amuwaliriza okugenda n’okwegonza okw’emimwa gye.
22Amangu ago agenda amugoberera,
Ng’ente bw’egenda okusalibwa,
Oba ng’amasamba bwe gagenda okukangavvula omusirusiru;
237:23 Mub 9:12Okutuusa akasaale lwe kalifumita ekibumba kye;
Ng’ennyonyi bw’eyanguwa okugwa mu kyambika,
So tamanyi ng’alifiirwa obulamu bwe.
24Kale nno, baana bange, mumpulirenga,
Era mussengayo omwoyo eri ebigambo eby’omu kamwa kange.
25Omutima gwo tegukyamiranga mu makubo ge,
Towabiranga mu mpenda ze.
267:26 Nek 13:26Kubanga yasuula bangi nga bafumitiddwa ebiwundu:
Weewaawo, ababe abattibwa ggye ddene.
277:27 Nge 2:18; 5:5; 9:18Ennyumba ye lye kkubo lyennyini eridda mu magombe
Nga likka mu bisenge eby’okufa.