
5
1Mwana wange, ssangayo omwoyo eri amagezi gange;
Teganga okutu eri okutegeera kwange:
25:2 Mal 2:7Olyoke okuumenga okuteesa,
N’emimwa gyo gikwatenga okumanya.
35:3 Zab 55:21, Nge 2:16, Lu 4:11Kubanga emimwa gy’omukazi omugenyi gitonnya omubisi gw’enjuki,
N’akamwa ke kasinga amafuta obugonvu:
45:4 Zab 149:6, Mub 7:26, Kung 3:15Naye enkomerero ey’oluvannyuma ekaawa ng’omususa,
Esala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.
55:5 Nge 7:27Ebigere bye bikka mu kufa;
Ebisinde bye bikwata amagombe;
65:6 Nge 4:26N’okulaba talaba kkubo ttereevu ery’obulamu:
Amakubo ge gasagaasagana, so takimanyi.
7Kale nno, baana bange, mumpulirenga,
So temuvanga mu bigambo eby’omu kamwa kange.
8Ekkubo lyo limwesambire ddala,
So tosembereranga luggi lwa nnyumba ye:
9Olemenga okuwa abalala ekitiibwa kyo,
N’emyaka gyo eri omukambwe.
10Abagenyi balemenga okukkuta amaanyi go;
N’emirimu gyo giremenga okubeera mu nnyumba y’omunnaggwanga;
11Naawe n’onakuwala enkomerero yo ng’etuuse
Ennyama yo n’omubiri gwo bwe birimalibwawo,
125:12 Zab 107:11, Nge 1:22,25,29N’oyogera nti Nga nakyawanga okuyigirizibwa,
Omutima gwange ne gunyoomanga okunenyezebwa;
13So saagonderanga ddoboozi lya bayigiriza bange,
So saateganga kutu kwange eri abo abanjigirizanga!
14Nabulako katono okuba mu bubi bwonna
Wakati mu kkuŋŋaaniro n’ekibiina.
155:15 Lu 4:12,15, Yer 2:13Onyweranga amazzi mu kidiba kyo ggwe,
N’amazzi agakulukuta mu luzzi lwo ggwe.
16Ensulo zo zandisaasaanidde ddala,
Emigga egy’amazzi ne giba mu nguudo?
175:17 Nge 14:10Gabeereranga ddala gago wekka,
So si ga bagenyi wamu naawe.
185:18 Mub 9:9, Mal 2:14Ensulo yo ebeerenga n’omukisa;
Era sanyukiranga omukazi ow’omu buvubuka bwo.
195:19 Lu 4:5Ng’ennangaazi ekwagala n’empeewo ekusanyusa,
Amabeere ge gakumalenga mu biro byonna;
Era osanyukirenga bulijjo okwagala kwe.
205:20 Nge 5:3Kubanga lwaki ggwe okusanyukiranga omukazi omugenyi, mwana wange,
N’ogwa mu kifuba ky’atali wuwo?
215:21 Yob 31:4, Zab 119:168, Yer 16:17, Beb 4:13Kubanga amakubo g’abantu gali mu maaso ga Mukama,
Era atereeza eŋŋendo ze zonna.
22Obutali butuukirivu bwe ye bulikwata omubi,
Era alisibibwa n’emigwa egy’okwonoona kwe.
235:23 Yob 4:21, Nge 10:21Alifa olw’okubulwa okuyigirizibwa;
Era olw’obusirusiru bwe obungi aliwaba.