
4
1Baana bange, muwulirenga okuyigiriza kwa kitammwe,
Mutegenga amatu okumanya okutegeera:
2Kubanga mbawa okuyiga okulungi;
Temuvanga mu tteeka lyange.
3Kubanga nali mwana eri kitange,
Omugonvu era eyayagalibwanga nzekka mu maaso ga mmange.
44:4 Leev 18:5, Is 55:3Era yanjigirizanga n’aŋŋamba nti
Omutima gwo gunywezenga ebigambo byange;
Kwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu:
54:5 Nge 2:2Funa amagezi, funa okutegeera;
Togeerabiranga so tovanga mu bigambo eby’omu kamwa kange:
64:6 2 Bas 2:10Togalekanga, nago ganaakukuumanga;
Ogaagalanga nago ganaakulindanga.
7Amagezi kye kigambo ekisinga obukulu; kale funa amagezi:
Weewaawo, funa okutegeera n’ebyo byonna bye wafunanga.
8Gagulumizenga nago galikukuza:
Galikutuusa mu kitiibwa, bw’onoogawambaatiranga.
94:9 Nge 1:9Galiwa omutwe gwo engule ey’obuyonjo:
Galikugabira enkuufiira ey’obulungi.
10Ai mwana wange, wulira okkirizenga ebigambo byange;
N’emyaka egy’obulamu bwo giriba mingi.
11Naakuyigiriza ekkubo ery’amagezi;
Naakuluŋŋamya mu makubo ag’obugolokofu.
124:12 Zab 18:36, Nge 3:23Bw’onootambulanga ebigere byo tebiifundikirwenga;
Era bw’onoddukanga teweesittalenga.
13Nywerezanga ddala okuyigirizibwa; tokutanga:
Kukwatenga; kubanga bwe bulamu bwo.
144:14 Zab 1:1Toyingiranga mu kkubo ery’ababi,
So totambuliranga mu lugendo olw’abasajja ababi.
15Olwesambanga, toluyitangako;
Okyukanga okuluvaamu, weeyongerenga mu maaso.
164:16 Zab 36:4Kubanga tebeebaka wabula nga bamaze okukola akabi;
N’otulo tubaggibwako wabula nga baliko be bagwisizza.
17Kubanga balya emmere ey’obubi,
Ne banywa omwenge ogw’okugira ekyejo.
184:18 Yob 11:17; 22:28, Is 62:1, Dan 12:3Naye ekkubo ery’abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana,
Ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira.
194:19 1 Sam 2:9, Is 59:9,10, Yer 23:12, Yok 11:10, 1 Yok 2:10Ekkubo ery’ababi liriŋŋanga ekizikiza:
Tebamanyi ekibeesittaza.
20Mwana wange, ssangayo omwoyo eri ebigambo byange;
Teganga okutu eri okwogera kwange.
21Tebivanga ku maaso go;
Bikuumirenga wakati mu mutima gwo.
224:22 Ma 32:47, Nge 8:35Kubanga ebyo bwe bulamu eri abo ababiraba,
Era kwe kulama eri omubiri gwabwe gwonna.
234:23 Mak 12:34,35Onyiikiranga nnyo nnyini okukuumanga omutima gwo;
Kubanga omwo mwe muva ensulo ez’obulamu.
24Weggyengako akamwa akabambaavu,
N’emimwa emikyamu ogyewalanga nnyo.
254:25 Beb 12:2Amaaso go galuŋŋamirenga ddala,
N’ebikowe byo bitunuulirenga ddala emberi yo.
264:26 Nge 5:6,21, Beb 12:13Tereezanga ekkubo ery’ebigere byo,
Era amagenda go gonna ganywerenga.
274:27 Ma 5:32Tokyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono:
Ggyawo ekigere kyo obutakola bubi.