
30
130:1 Nge 31:1Ebigambo bya Aguli mutabani wa Yake; ebyalagulwa.
Omusajja agamba Isyeri ne Ukali;
230:2 Zab 73:22Nti Mazima nninga ensolo okusinga omuntu yenna,
So sirina kutegeera kwa muntu:
3So siyiganga magezi,
So sirina kumanya kw’oyo Omutukuvu.
430:4 Yob 26:8, Zab 104:3,4, Yok 3:13, Lub 19:12Ani eyali alinnye mu ggulu n’akka?
Ani eyali akuŋŋaanyizza empewo mu bikonde bye?
Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye?
Ani eyali anywezezza enkomerero zonna ez’ensi
Erinnya lye ye ani, n’omwana we erinnya lye ye ani, oba ng’omanyi?
530:5 Zab 18:30Buli kigambo kya Katonda kikemebwa:
Aba ngabo eri abo abamwesiga.
630:6 Ma 4:2Toyongeranga ku bigambo bye,
Aleme okukunenyanga naawe n’olabika ng’omulimba.
7Nkusabye ebigambo bibiri;
Tonnyima nga sinnafa:
830:8 Mat 6:11Ggyangawo ebigambo ebitaliimu n’eby’obulimba bibe wala nange:
Tompanga bwavu newakubadde obugagga;
Ndisanga emmere gye nneetaaga:
930:9 Kuv 5:2; 20:7, Ma 8:12,14Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti Mukama ye ani?
Era nnemenga okuba omwavu ne nziba,
Ne njogera bubi erinnya lya Katonda wange.
1030:10 Zab 15:3Towaayirizanga muddu eri mukama we,
Alemenga okukukolimira naawe n’olowoozebwa ng’ozizza omusango.
1130:11 Kuv 21:17Waliwo abantu abakolimira kitaabwe,
So tebasabira nnyaabwe omukisa.
1230:12 Nge 16:2, Is 65:5, Luk 18:11, Kub 3:17Waliwo abantu ababa abalongoofu mu maaso gaabwe bo,
Era naye tebanaazibwako empitambi yaabwe.
1330:13 Zab 101:5Waliwo abantu, amaaso gaabwe nga malalambavu!
N’ebikowe byabwe bigulumizibwa.
1430:14 Zab 14:4, Am 8:4Waliwo abantu amannyo gaabwe bitala, n’amasongezo gaabwe bwambe,
Okulya abaavu okubamalawo ku nsi, n’abeetaaga mu bantu.
15Ekinoso kirina abawala baakyo babiri aboogerera waggulu nti Mpa, mpa.
Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta ennaku zonna,
Weewaawo, ebina ebitayogera nti Lekera awo:
1630:16 Lub 30:1Amagombe; n’olubuto olugumba;
N’ensi etekkuta mazzi;
N’omuliro ogutayogera nti Lekera awo.
1730:17 Lub 9:22, Nge 23:22, Yer 16:4Eriiso erikudaalira kitaawe,
Ne linyooma okugondera nnyina,
Bannamuŋŋoona ab’omu kiwonvu baliriggyamu,
N’empungu ziririrya.
18Waliwo ebigambo bisatu eby’ekitalo ebinnema,
Weewaawo, ebina bye ssimanyi:
19Ekkubo ery’empungu mu bbanga;
Ekkubo ery’omusota ku lwazi;
Ekkubo ery’eryato wakati mu nnyanja;
N’ekkubo ery’omusajja n’omuwala.
20Bwe lityo bwe libeera ekkubo ery’omukazi omwenzi;
Alya n’asangula ku mimwa gye,
N’ayogera nti Siriiko bubi bwe nkoze.
21Ensi ekankanira ebigambo bisatu,
Era ebina by’eteyinza kugumiikiriza:
2230:22 Nge 19:10Omuddu bw’aba kabaka;
N’omusirusiru bw’akkuta emmere;
23Omukazi omugwagwa bw’afumbirwa;
N’omuzaana asikira mugole we.
24Waliwo ebintu bina ebitono ku nsi,
Naye birina amagezi mangi nnyo nnyini:
2530:25 Nge 6:6-8Enkolooto lye ggwanga eritalina maanyi,
Naye zeeterekera emmere yaazo mu kyeya;
2630:26 Zab 104:18Obumyu buntu bunafu,
Naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja;
2730:27 Yo 2:7,8Enzige tezirina kabaka,
Naye zitabaala zonna bibiina bibiina;
28Omunya gukwata n’engalo zaagwo,
Naye gubeera mu mayumba ga bakabaka.
29Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kutambula kwabyo,
Weewaawo, ebina ebyesimba obulungi mu kugenda:
30Empologoma esinga ensolo zonna amaanyi,
So tewali gy’esegulira yonna;
31Embwa enjizzi; era n’embuzi ennume;
Ne kabaka atagolokokerwako.
3230:32 Mi 7:16Oba ng’okoze eby’obusirusiru nga weegulumiza,
Oba ng’olowoozezza obubi,
Teekanga omukono gwo ku kamwa ko.
33Kubanga okusunda amata kuleeta omuzigo,
N’okunyigiriza ennyindo kuleeta omusaayi:
N’okunyigiriza kw’obusungu bwe kutyo kuleeta oluyombo.