
3
13:1 Ma 8:1Mwana wange, teweerabiranga tteeka lyange;
Naye omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange;
23:2 Zab 119:165, Nge 9:11Kubanga ennaku ennyingi n’emyaka egy’okuwangaala
N’emirembe bye birikwongerwako.
33:3 Zab 85:10, Nge 1:9, Yer 17:1, 2 Kol 3:3Okusaasira n’amazima tebikulekanga:
Bisibenga mu bulago bwo;
Biwandiikenga ku bipande eby’omutima gwo:
43:4 1 Sam 2:26, Luk 2:52, Bar 14:18Bw’onoolabanga bw’otyo okuganja n’okutegeera okulungi
Mu maaso ga Katonda n’ag’abantu.
53:5 Zab 37:3, Yer 9:23Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna.
So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe:
63:6 1 Byom 28:9, Yer 10:23Mwatulenga mu makubo go gonna,
Kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.
73:7 Yob 28:28, Bar 12:16Tobanga na magezi mu maaso go ggwe;
Tyanga Mukama ove mu bubi:
8Ekyo kye kinaabanga obulamu eri ekkundi lyo,
N’obusomyo eri amagumba go.
93:9 Kuv 23:19Ossangamu ekitiibwa Mukama n’ebintu byo,
N’ebibereberye ku bibala byo byonna:
103:10 Ma 28:8Amawanika go bwe ganajjulanga bwe gatyo ekyengera,
N’amasogolero go ganaayiikanga omwenge omusu.
113:11,12 Ma 8:5, Yob 5:17, 1 Kol 11:32, Beb 12:5,6, Kub 3:19Mwana wange, tonyoomanga kubuulirira kwa Mukama;
So n’okunenya kwe kulemenga okukukooya:
12Kubanga Mukama gw’ayagala gw’anenya;
Era nga kitaawe omwana we gw’asanyukira.
13Aweereddwa omukisa omuntu alaba amagezi.
N’oyo afuna okutegeera.
143:14,15 Yob 28:15-18, Nge 8:10,11Kubanga obuguzi bwago businga obuguzi obwa ffeeza,
N’amagoba gaago gakira zaabu ennungi.
15Ga muwendo mungi okusinga amayinja amatwakaavu:
So tewali kintu ky’oyinza okwegomba ebyenkanyankanyizibwa nago.
163:16 Nge 8:18Okuwangaala kuli mu mukono gwago ogwa ddyo;
Mu mukono gwago ogwa kkono mulimu obugagga n’ekitiibwa.
17Amakubo gaago makubo ga kusanyukiramu,
N’eŋŋendo zaago zonna mirembe.
183:18 Lub 2:9; 3:22, Kub 2:7; 22:2Ago gwe muti ogw’obulamu eri abo abagakwata:
Era alina omukisa buli muntu abeera nago.
193:19 Zab 104:24; 136:5, Nge 8:27Mukama yassaawo emisingi gy’ensi n’amagezi;
Yanyweza eggulu n’okutegeera.
203:20 Lub 7:11, Ma 33:28, Yob 38:8Ennyanja yayabika n’okumanya kwe,
Eggulu ne litonnya omusulo.
21Mwana wange, ebyo tebivanga ku maaso go;
Kwatanga amagezi amatuufu n’okuteesa;
223:22 Ma 32:47, Nge 1:9Bwe binaabanga bwe bityo obulamu eri emmeeme yo,
N’obuyonjo eri obulago bwo.
233:23 Zab 91:11,12Awo lw’olitambulira mu kkubo lyo mirembe,
So n’ekigere kyo tekiryesittala.
243:24 Leev 26:6, Yer 31:26Bw’onoogalamiranga tootyenga:
Weewaawo, onoogalamiranga n’otulo two tunaakuwoomeranga.
253:25 Yob 5:21, Zab 91:5Totyanga ntiisa gy’otomanyiridde,
Newakubadde okuzikiriza okw’ababi bwe kujjanga:
26Kubanga Mukama ye anaabanga obwesige bwo,
Era ye anaakuumanga ekigere kyo olemenga okuwambibwa.
273:27 Bag 6:10Tommanga birungi abo abagwanira,
Bwe kiri mu buyinza bw’omukono gwo okubikola.
283:28 Leev 19:13, Ma 24:15Togambanga muliraanwa wo nti Genda okomewo,
Enkya ndikuwa;
Bwe kiri naawe.
29Tosaliranga munno bubi,
Kubanga abeera gy’oli mirembe.
30Toyombanga na muntu awatali nsonga,
Oba nga taliiko bubi bw’akukoze.
313:31 Zab 37:1Tokwatirwanga buggya omusajja ow’amawaggali,
So teweerobozanga makubo ge gonna.
323:32 Yob 29:4Kubanga omukyamu wa muzizo eri Mukama:
Naye ekyama kye kiri n’abagolokofu.
333:33 Yob 8:6, Zek 5:4Ekikolimo kya Mukama kiri mu nnyumba ey’omubi:
Naye awa omukisa ekifo abatuukirivu mwe babeera.
343:34 Zab 18:26, Yak 4:6, 1 Peet 5:5Mazima anyooma abanyoomi,
Naye awa abeetoowaza ekisa.
353:35 Baf 3:19Ab’amagezi balisikira ekitiibwa:
Naye ensonyi ze ziriba okukuzibwa okw’abasirusiru.