
29
129:1 Nge 1:24-27; 6:15, Yer 19:11Omuntu akakanyaza ensingo ye bw’anenyezebwa emirundi emingi
Alimenyeka nga tamanyiridde awatali kuwonyezebwa.
229:2 Es 3:15; 8:15, Nge 28:12,28Abatuukirivu bwe beeyongera, abantu basanyuka:
Naye omuntu omubi bw’afuga, abantu basinda.
329:3 1 Bassek 1:48, Nge 6:26; 10:1Buli ayagala amagezi asanyusa kitaawe:
Naye oyo abeera n’abakazi abenzi amalawo ebintu bye.
4Kabaka anyweza ensi lwa kusala misango:
Naye asolooza enguzi agisuula.
529:5 Zab 9:15, Nge 28:23Omuntu anyumiriza munne
Ategera ebigere bye ekitimba.
629:6 Mub 9:12Mu kusobya kw’omuntu omubi mulimu ekyambika:
Naye omutuukirivu ayimba n’asanyuka.
729:7 Yob 29:16, Zab 41:1Omutuukirivu yeetegereza ensonga ey’abaavu:
Naye omubi talina kutegeera okugimanya.
8Abantu abanyooma basasamaza ekibuga:
Naye abantu ab’amagezi bakyusa obusungu ne buvaawo.
9Omuntu ow’amagezi bw’aba n’empaka n’omuntu omusirusiru,
Oba nga asunguwala oba nga aseka, tewaliba kuwummula.
1029:10 Lub 4:5,8, 1 Yok 3:12Abayagala omusaayi bakyawa oyo eyatuukirira:
N’omugolokofu banoonya obulamu bwe.
11Omusirusiru ayatula obusungu bwe bwonna:
Naye omuntu ow’amagezi abuziyiza n’abukkakkanya.
12Omukulu bw’awulira eby’obulimba,
Abaddu be bonna baba babi.
1329:13 Zab 13:3, Nge 22:2Omwavu n’omujoozi balabagana:
Mukama ayakira amaaso gaabwe bombi.
1429:14 Zab 72:2,4, Nge 16:12Kabaka asalira abaavu emisango n’obwesigwa,
Entebe ye eneenywezebwanga emirembe gyonna.
1529:15 Nge 10:1Omuggo n’okunenya bireeta amagezi:
Naye omwana gwe balekera awo akwasa nnyina ensonyi.
1629:16 Zab 37:34; 91:8Ababi bwe beeyongera, okusobya kweyongera:
Naye abatuukirivu balitunuulira okugwa kwabwe.
1729:17 Nge 13:24Buuliriranga omwana wo, anaakuwanga okuwummula;
Weewaawo, anaasanyusanga emmeeme yo.
1829:18 Kuv 32:25, 1 Sam 3:1, Am 8:11,12, Yok 13:17, Yak 1:25Awatali kwolesebwa, abantu basuula okuziyizibwa:
Naye akwata amateeka alina omukisa.
19Omuddu taganya kubuulirirwa lwa bigambo:
Kubanga ne bw’ategeera talissaayo mwoyo.
2029:20 Nge 26:12Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye?
Omusirusiru asuubirwa okukira ye.
2129:21 Nge 18:5, Ez 13:19Alera omuddu we nga yeekanasa okuva mu buto bwe
Alimufuukira omwana ku nkomerero.
2229:22 Nge 15:18Omuntu ow’obusungu aleeta ennyombo,
N’ow’ekiruyi okusobya kwe kuba kungi nnyo nnyini.
2329:23 Zab 18:27, Nge 11:2; 15:33, Mat 23:12, Yak 4:6Amalala ag’omuntu galimutoowaza:
Naye alina omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.
2429:24 Leev 5:1Buli assa ekimu n’omubi akyawa obulamu bwe ye:
Awulira okulayizibwa n’atabaako ky’ayogera.
2529:25 Lub 12:12,13, Nge 18:10, Yok 12:42,43Okutya abantu kuleeta ekyambika:
Naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.
2629:26 Is 49:4Bangi abaagala okuganja eri omukulu:
Naye omusango gw’omuntu guva eri Mukama.
27Omuntu atali wa nsonga wa muzizo eri abatuukirivu:
N’oyo akwata ekkubo eggolokofu wa muzizo eri ababi.