
28
128:1 Leev 26:17, 1 Sam 17:37Ababi badduka nga tewali muntu agoberera:
Naye abatuukirivu baguma emyoyo ng’empologoma.
228:2 1 Bassek 16:8-23Olw’okusobya kw’ensi bakabaka baamu baba bangi:
Naye olw’abantu abalina okutegeera n’okumanya okunywera kwayo kulyongerwako.
328:3 Mat 18:28Omuntu eyeetaaga ajooga abaavu
Nkuba ewemmenta etalekaawo mmere yonna.
428:4 1 Bassek 18:18,21, Nek 13:11,15, Mat 3:7, Bar 1:32Abo abaleka amateeka batendereza ababi:
Naye abo abakwata amateeka bayomba nabo.
528:5 Zab 92:6; 119:100, Yok 7:17, 1 Kol 2:15Abantu ababi tebategeera musango:
Naye abo abanoonya Mukama bategeera byonna.
628:6 Nge 19:1Omwavu atambulira mu butayonoona bwe
Akira obulungi ow’amakubo amakyamu, newakubadde nga mugagga.
728:7 Nge 23:20Buli akwata amateeka mwana wa magezi:
Naye aba mukwano gw’abantu abaluvu akwasa kitaawe ensonyi.
828:8 Leev 25:36, Nge 14:32Ayongera ku bintu bye olw’amagoba n’ebisalirwa
Akuŋŋaanyiza oyo asaasira abaavu.
928:9 Zab 109:7, Nge 15:8Akyusa okutu kwe obutawulira mateeka,
N’okusaba kwe kwa muzizo.
1028:10 Zab 7:15Buli akyamya abagolokofu mu kkubo ebbi
Aligwa ye yennyini mu bunnya bwe ye:
Naye abo abatuukirira balisikira ebirungi.
11Omugagga aba wa magezi mu kulowooza kwe ye;
Naye omwavu alina okutegeera amukebera.
1228:12 Nge 11:10; 28:28Abatuukirivu bwe bawangula, wabaawo ekitiibwa ekinene:
Naye ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka.
1328:13 Yob 31:33, Zab 32:5, 1 Yok 1:8,9Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa:
Naye buli akwatula n’akuleka alifuna okusaasirwa.
14Alina omukisa omuntu atya mu biro byonna.
Naye oyo akakanyaza omutima gwe aligwa mu kabi.
1528:15 Kuv 1:13,14, Mat 2:16Ng’empologoma ewuluguma n’eddubu etambulatambula;
Bw’abeera bw’atyo omukulu omubi afuga abantu abaavu.
16Omulangira atalina kutegeera aba mujoozi nnyo era:
Naye oyo akyawa omululu aliwangaala ennaku nnyingi.
17Omuntu eyeebinise omusaayi ogwa buli muntu yenna
Aliddukira mu bunnya; tewabangawo muntu amuziyiza.
1828:18 Nge 10:9Buli atambula n’obugolokofu aliwonyezebwa:
Naye ow’amakubo amakyamu aligwa mangu ago.
1928:19 Nge 12:11Alima ensi ye aliba n’emmere nnyingi:
Naye agoberera abantu abataliiko kye bagasa aliba n’obwavu obulimumala.
2028:20 1 Tim 6:9Omuntu omwesigwa aliba n’okwebazibwa kungi:
Naye ayanguwa okugaggawala taliwona kubonerezebwa.
2128:21 Nge 18:5, Ez 13:19Okusosola mu bantu si kulungi:
Newakubadde omuntu okusobya olw’akamere obumere.
22Alina eriiso ebbi ayanguwa okugoberera obugagga,
So tamanyi ng’okwetaaga kulimutuukako.
2328:23 Nge 27:5,6; 29:5Anenya omuntu oluvannyuma alyeyongera okuganja
Okusinga oyo anyumiriza n’olulimi.
24Buli anyaga kitaawe oba nnyina n’ayogera nti Si musango;
Oyo ye munne w’omuzikiriza.
2528:25 Nge 15:18Ow’omwoyo ogw’omululu aleeta oluyombo:
Naye eyeesiga Mukama aligejja.
2628:26 1 Kol 3:18Eyeesiga omutima gwe ye musirisiru
Naye atambula n’amagezi ye aliwonyezebwa.
2728:27 Nge 11:24; 19:17Agabira omwavu teyeetaagenga:
Naye akisa amaaso ge anaabanga n’ebikolimo bingi.
2828:28 Nge 28:12Ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka:
Naye bwe bazikirira, abatuukirivu beeyongera.