
27
127:1 Luk 12:19,20, Yak 4:13,14Teweenyumirizanga bya nkya;
Kubanga tomanyi bwe binaaba olunaku bye luyinza okuzaala.
227:2 Nge 25:27, 2 Kol 10:18Omundi akutenderezenga, so si kamwa ko ggwe;
Omugenyi, so si mimwa gyo ggwe.
327:3 Nge 17:12Ejjinja lizitowa, n’omusenyu muzito;
Naye okweraliikirira kw’omusirusiru kubisinga byombi obuzito.
427:4 Nge 6:34Obusungu bukambwe, n’ekiruyi mukoka;
Naye ani ayinza okuyimirira awali obuggya?
527:5 Nge 28:23, Bag 2:14Okunenya mu lwatu
Kusinga obulungi okwagala okukisibwa.
627:6 Zab 141:5Ebiwundu eby’omukwano byesigwa:
Naye okunywegera kw’omulabe kuba kungi nnyo nnyini.
727:7 Nge 25:16Emmeeme ekkuse etamwa ebisenge by’enjuki:
Naye emmeeme erumiddwa enjala buli kintu ekikaawa ekiyita kiwoomerevu.
827:8 Nge 26:2Ng’ennyonyi ewaba okuva mu kisu kyayo,
Bw’atyo bw’abeera omuntu awaba okuva mu kifo kye.
9Amafuta ag’omugavu n’eby’akaloosa bisanyusa omutima:
Obuwoomerevu bw’omukwano gw’omuntu bwe busanyusa bwe butyo obuva mu kuteesa okw’omu mwoyo gwe.
1027:10 1 Bassek 12:6, Nge 17:17Mukwano gwo ggwe ne mukwano gwa kitaawo tobaabuliranga;
So togendanga mu nnyumba ya muganda wo ku lunaku kw’olabira obuyinike:
Muliraanwa wo akuli okumpi akira ow’oluganda ali ewala.
1127:11 Zab 119:42, Nge 10:1Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange,
Ndyokenga nziremu oyo anvuma.
1227:12 Nge 22:3Omuntu omutegeevu alaba obubi ne yeekweka:
Naye abatalina magezi bayitawo buyisi ne bafiirwa.
1327:13 Nge 20:16Twalanga ekyambalo ky’oyo eyeeyimirira gw’atamanyi;
Era mubowenga oyo eyeeyimirira omukazi omugenyi.
14Eyeebaza mukwano gwe n’eddoboozi eddene, ng’agolokoka enkya mu makya,
Kinaayitibwanga kikolimo gy’ali.
1527:15 Nge 19:13Okutonnya olutata, obudde nga bwa nkuba nnyingi,
N’omukazi omuyombi bw’afaanana:
16Ayagala okumuziyiza aziyiza empewo,
N’omukono gwe ogwa ddyo gulwana n’amafuta.
17Ekyuma kiwagala kyuma;
Bw’atyo omuntu awagala amaaso ga mukwano gwe.
1827:18 Mat 20:6, Mat 25:21, 1 Kol 3:8; 9:7Buli alina omutiini anaalyanga ku bibala byagwo;
N’oyo aweereza mukama we anassibwangamu ekitiibwa.
19Ng’amaaso bwe goolekera amaaso mu mazzi,
Bwe gutyo omutima gw’omuntu bwe gwolekera omuntu.
2027:20 Nge 30:15,16, Mub 1:8; 4:8Amagombe n’okuzikirira tebikkutanga ennaku zonna;
N’amaaso g’abantu tegakkutanga ennaku zonna.
2127:21 Nge 17:3Entamu erongoosa ya ffeeza n’ekikoomi kya zaabu,
N’omuntu akemebwa lwa kumutendereza.
22Ne bw’osekula omusirusiru mu kinu n’omusekuzo mu kasooli omusekule,
Era naye obusirusiru bwe tebuumuvengako.
23Obeeranga munyiikivu okumanya embuzi zo bwe ziri,
Okeberanga nnyo ente zo:
2427:24 Nge 23:5Kubanga obugagga si bwa lubeerera;
Era engule ebeerera awo okutuusa emirembe gyonna?
2527:25 Zab 90:5,6Omuddo omukalu gutwalibwa, n’essubi eggonvu lirabika,
N’emiddo egy’oku nsozi bagiyingiza.
2627:26,27 1 Tim 6:8Abaana b’endiga baba ba kukwambaza,
N’embuzi gwe muwendo gw’ennimiro:
27Era walibaawo amata ag’embuzi aganaamalanga okukuliisa n’okuliisa ab’omu nnyumba yo,
N’ebyokulya eby’abawala bo.