
26
126:1 1 Sam 12:17Ng’omuzira bwe gutasaana mu kyeya, era ng’enkuba mu biro eby’okukunguliramu,
N’ekitiibwa bwe kityo tekisaanira musirusiru.
226:2 Kubal 23:8, 2 Sam 16:12Ng’enkazaluggya mu kuwaba kwayo, era ng’akataayi mu kubuuka kwako,
Bwe kityo n’ekikolimo eky’obwereere tekiggwa.
326:3 Zab 32:9, Nge 19:29Oluga lusaanira mbalaasi, olukoba lusaanira ndogoyi,
N’omuggo gusaanira mabega ga basirusiru.
426:4 2 Sam 16:11Toddangamu musirusiru ng’obusirusiru bwe bwe buli,
Era naawe olemenga okumufaanana.
526:5 Mat 16:1-4; 21:24-27, Bar 12:16Oddangamu omusirusiru ng’obusirusiru bwe bwe buli,
Alemenga okuba ow’amagezi mu kulowooza kwe ye.
6Aweereza ebigambo mu mukono gw’omusirusiru
Yeesalako ebigere, era anywa okufiirwa.
7Amagulu gawenyera galeebeeta buleebeesi:
Olugero bwe lubeera bwe lutyo
mu kamwa k’abasirusiru.
8Ng’ensawo erimu amayinja ag’omuwendo omungi eri mu kifunvu eky’amayinja,
Bw’atyo bw’abeera oyo assaamu ekitiibwa omusirusiru.
9Ng’eriggwa erifumita omukono gw’omutamiivu,
Olugero bwe lubeera bwe lutyo mu kamwa k’abasirusiru.
10Ng’omulasi afumita bonna,
Bw’abeera bw’atyo oyo agulirira omusirusiru, n’oyo agulirira abo abayitawo.
1126:11 2 Peet 2:22Ng’embwa edda ku bisesemye byayo,
Bw’abeera bw’atyo omusirusiru addiŋŋana mu busirusiru bwe.
1226:12 Nge 29:20Olaba omuntu ow’amagezi mu kulowooza kwe ye?
Omusirusiru asuubirwa okukira ye.
1326:13 Nge 22:13Omugayaavu ayogera nti Waliwo empologoma mu kkubo;
Empologoma eri mu nguudo.
14Ng’oluggi bwe lukyukira ku ŋŋango zaalwo,
Omugayaavu bw’akyukira bw’atyo ku kitanda kye.
1526:15 Nge 19:24Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya;
Okuguzza nate ku kamwa ke kumukooyesa.
1626:16 Nge 26:5Omugayaavu alina amagezi mu kulowooza kwe ye
Okukira abantu omusanvu abayinza okuleeta ensonga.
17Ayitawo ne yeeraliikirira olw’empaka ezitali zize
Aliŋŋanga akwata embwa ku matu.
18Ng’omulalu akasuka emimuli,
N’obusaale, n’okufa;
19Bw’atyo bw’abeera omuntu alimba munne,
N’ayogera nti Sizannya buzannya?
20Enku nga zibuze omuliro kyeguva guzikira:
Era awabuze omugeyi, okuyomba kuggwaawo.
2126:21 2 Sam 20:1, Nge 15:18Ng’amanda bwe gakwata ebisiriiza ebyokya n’enku nga bwe zikoleeza omuliro,
Omuntu omuyombi bw’akoleeza bw’atyo oluyombo.
2226:22 Nge 18:8Ebigambo eby’omugeyi biri ng’ebiwundu,
Era bikka mu bisenge eby’omu lubuto.
2326:23 Mat 23:27, Luk 11:39Emimwa eminyiikivu n’omutima omubi
Biri ng’ekintu eky’ebbumba ekibikkiddwako amasengere aga ffeeza.
24Akyawa akuusakuusa n’emimwa gye,
Naye atereka obulimba mu ye:
2526:25 Zab 28:3Bw’ayogeranga eky’okwegonza, tomukkirizanga:
Kubanga mu mutima gwe mulimu eby’emizizo musanvu:
26Okukyawa kwe newakubadde nga kwebikkako obukuusa,
Obubi bwe bulyolesebwa mu lwatu mu maaso g’ekibiina.
2726:27 Zab 7:15, Nge 28:10Buli asima obunnya, aligwa omwo:
N’oyo ayiringisa ejjinja, liridda ku ye.
28Olulimi olulimba lukyawa abo be lwafumita;
N’akamwa akanyumiriza kaleeta okuzikirira.