
25
125:1 Nge 1:1Era na zino ngero za Sulemaani, abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baawandiika.
225:2 Ma 29:29, Bar 11:33Okukisa ekigambo kitiibwa kya Katonda:
Naye okukebera ekigambo kye kitiibwa kya bakabaka.
3Eggulu nga bwe ligenda ennyo waggulu, n’ensi nga bw’egenda ennyo wansi.
N’omutima gwa bakabaka tegunoonyezeka.
425:4 Mal 3:2,3Ggyangamu amasengere mu ffeeza,
Ne muvaamu ekibya eky’omulongoosa:
525:5 Nge 16:12Ggyangawo ababi mu maaso ga kabaka,
N’entebe ye erinywezebwa mu butuukirivu.
625:6,7 Luk 14:8-11Teweekuza mu maaso ga kabaka,
So toyimiriranga mu kifo eky’abakulu:
7Kubanga waakiri bakugambe nti Yambuka wano;
N’otossibwa wansi mu maaso g’omulangira,
Amaaso go gwe galabye.
825:8 Mat 5:25, Luk 12:58Tofulumanga mangu okuwakana,
Olemenga okubulwa ku nkomerero by’oba okola,
Munno ng’akuswazizza.
925:9 Mat 18:15Wozanga ensonga yo ne munno yennyini,
So tobikkulanga kyama kya beene:
10Akiwulira alemenga okukuvuma,
Okuswala kwo ne kutavangawo.
1125:11 Nge 15:23Ekigambo ekyogerwa nga bwe kisaanye
Kiri ng’amapeera aga zaabu mu bisero ebya ffeeza.
1225:12 Nge 15:31Ng’empeta ey’omukutu eya zaabu n’eky’obuyonjo ekya zaabu ennungi,
Ow’amagezi anenya bw’abeera bw’atyo eri okutu kw’okugonda.
1325:13 Nge 13:17Ng’empewo eya serugi bw’ebeera mu biro eby’okukunguliramu,
Omubaka omwesigwa bw’abeera bw’atyo eri abo abamutuma;
Kubanga aweezaweeza emmeeme ya bakama be,
1425:14 Nge 20:6, Yud 12Ng’ebire n’empewo awatali nkuba,
Bw’atyo bw’abeera oyo eyeenyumiriza olw’ebirabo bye ng’alimba.
1525:15 Nge 16:14, Mub 10:4Okugumiikiriza okulwawo ennyo kwe kusendasenda omukulu,
N’olulimi olugonvu lumenya eggumba.
16Olabye omubisi gw’enjuki? lyangako ogunaakumala obumazi;
Olemenga okugukkuta n’ogusesema.
17Ekigere kyo tekirinnyanga mirundi mingi mu nnyumba ya munno;
Alemenga okukunyiwa n’akukyawa.
1825:18 Nge 24:28Omuntu awaayiriza munne
Nnyondo n’ekitala n’akasaale ak’obwogi.
19Okwesiga omuntu atali mwesigwa mu biro eby’okulabiramu ennaku
Linnyo erimenyese n’okugulu okusowose.
20Ng’omuntu ayambula ekyambalo mu biro eby’empewo, era ng’omwenge omukaatuufu, oguli ku luvu,
Bw’atyo bw’abeera oyo ayimbira ennyimba omutima oguliko obuyinike.
2125:21,22 2 Bassek 6:22, Mat 5:44, Bar 12:20Omulabe wo bw’alumwanga enjala, omuwanga emmere ey’okulya;
Era bw’alumwanga ennyonta omuwanga amazzi okunywa:
22Kubanga olikuma amanda ag’omuliro ku mutwe gwe,
Era Mukama alikuwa empeera.
23Embuyaga ez’obukiika obwa kkono zireeta enkuba:
N’olulimi olulyolyoma bwe luleeta bwe lutyo amaaso agaliko obusungu.
2425:24 Nge 21:9Beeranga waggulu ku nnyumba awafunda,
Olemenga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba engazi.
25Ng’amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta,
Ebigambo ebirungi ebiva mu nsi ey’ewala bwe biba bwe bityo.
26Ng’oluzzi olutabanguse, n’ensulo eyonoonese,
Omuntu omutuukirivu bw’abeera bw’atyo bw’asegulira omubi.
2725:27 Nge 27:2Si kirungi okulyanga omubisi gw’enjuki omungi:
Bwe kityo abantu okunoonya ekitiibwa kyabwe bo si kitiibwa.
28Ataziyiza mwoyo gwe
Ali ng’ekibuga ekimenyese so nga tekirina bbugwe.