
24
124:1 Zab 37:1Tokwatirwanga buggya abantu ababi,
So teweegombanga okuba awamu nabo:
224:2 Zab 10:7Kubanga omutima gwabwe guteesa okujooga,
N’emimwa gyabwe gyogera ku ttima.
324:3 Nge 14:1Amagezi ge gazimbya ennyumba;
N’okutegeera kwe kuginyweza:
424:4 Nge 23:23N’okumanya kwe kujjuza ebisenge
Obugagga bwonna obw’omuwendo omungi era obusanyusa.
524:5 Nge 21:22Omuntu ow’amagezi aba wa maanyi;
Weewaawo, omuntu alina okumanya ayongera obuyinza.
624:6 Nge 20:18Kubanga olirwana olutalo lwo n’okuteesa okw’amagezi:
Era mu bateesa ebigambo abangi mwe muli emirembe.
7Amagezi magulumivu nnyo, galema omusirusiru:
Tayasama kamwa ke mu mulyango.
8Agunja okukola obubi,
Abantu balimuyita omuntu ow’ettima.
924:9 Bik 8:22, 2 Kol 10:5Okulowooza kw’omusirusiru kwonoona:
Era omunyoomi wa muzizo eri abantu.
1024:10 Beb 12:3Bw’ozirika ku lunaku olw’okulabirako obuyinike,
Amaanyi go nga matono.
1124:11 Zab 82:4Obawonyanga abo abatwalibwa okuttibwa,
N’abo abagenda okuttibwa obalekanga.
1224:12 Yob 34:11, Nge 16:2, Mub 5:8, Yer 32:19Bw’onooyogeranga nti Laba, tetwamanya kino:
Oyo apima emitima takirowooza?
N’oyo akuuma emmeeme yo takimanyi?
Era talisasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli?
1324:13 Zab 19:10; 119:103Mwana wange, olyanga omubisi gw’enjuki, kubanga mulungi;
N’ebisenge byazo ebiwoomera amatama go:
1424:14 Nge 23:18Onoomanyanga ng’amagezi gawoomera bwe gatyo emmeeme yo:
Oba ng’ogalabye, awo walibaawo empeera,
N’essuubi lyo teririmalibwawo.
1524:15 Zab 10:9Toteegera ku nnyumba ya mutuukirivu, ggwe omuntu omubi;
Tonyaga kifo ky’awummuliramu:
1624:16 Yob 5:19, Zab 37:24, Nge 14:32Kubanga omuntu omutuukirivu agwa emirundi musanvu n’ayimuka nate:
Naye ababi obuyinike bubasuula.
1724:17 Nge 17:5Tosanyukanga omulabe wo bw’agwanga,
So n’omutima gwo gulemenga okusanyuka bw’ameggebwanga:
18Mukama alemenga okukiraba ne kimunyiiza,
N’akyusa obusungu bwe okumuvaako.
1924:19 Zab 37:1, Yer 12:1Teweeraliikiriranga olw’abo abakola obubi;
So tokwatirwanga buggya ababi:
2024:20 Yob 18:5, Nge 13:9Kubanga tewaliba mpeera eri omuntu omubi;
Ettabaaza ey’ababi erizikizibwa.
2124:21 1 Peet 2:17Mwana wange, otyanga Mukama ne kabaka:
So teweetabulanga n’abo abaagala okujjululajjulula.
22Kubanga obuyinike bwabwe buliyimuka nga tebamanyiridde;
Era ani amanyi okuzikirira kwabwe bombi?
2324:23 2 Byom 19:7, Nge 18:5Era na bino bigambo bya bagezigezi.
Okusosola mu bantu bw’osala emisango si kirungi.
2424:24 Nge 17:15Agamba omubi nti Ggwe mutuukirivu;
Abantu banaamukolimiranga, amawanga ganaamutamwanga:
25Naye abo abamunenya be baliba n’essanyu,
N’omukisa omulungi gulibatuukako.
26Addamu eby’ensonga
Anywegera emimwa.
27Teekateekanga omulimu gwo ebweru,
Ogwetegekerenga mu nnimiro;
Oluvannyuma n’olyoka ozimba ennyumba yo.
2824:28 Nge 25:18Tolumirizanga munno awatali nsonga:
So tolimbanga na mimwa gyo.
2924:29 Nge 20:22Toyogeranga nti Ndimukola nga ye bw’ankoze nze;
Ndisasula omusajja oyo ng’omulimu gwe bwe gubadde.
30Nayita ku nnimiro ey’omugayaavu,
N’olusuku olw’emizabbibu lw’oyo atalina kutegeera;
3124:31 Is 5:5Kale, laba, amaggwa nga galubunye lwonna,
Omwennyango nga gubisse ku lwo kungulu,
N’olukomera lwalwo olw’amayinja nga lusuuliddwa.
32Awo ne ntunula ne ndowooza nnyo:
N’alaba ne mpeebwa okuyigirizibwa.
3324:33,34 Nge 6:10,11Wakyaliwo okwebaka kutono, okubongoota kutono,
Okufunya engalo okwebaka kutono:
34Bwe kityo obwavu bwo bulituuka ng’omunyazi;
N’okwetaaga kwo ng’omusajja akutte ebyokulwanyisa.