
23
1Bw’otuulanga ku mmere wamu n’omukungu,
Olowoolezanga ddala oyo ali mu maaso go;
2Era weeteekenga akambe ku bulago bwo,
Oba nga oli muntu muluvu.
3Teweegombanga nva ze ennungi;
Kubanga bye byokulya eby’obulimba.
423:4 Nge 3:5; 28:20, 1 Tim 6:9,10Teweekooyanga okuba omugagga;
Vanga ku magezi go ggwe.
523:5 Nge 27:24Oneekalirizanga amaaso ku ekyo ekitaliiwo?
Kubanga mazima obugagga bwefunira ebiwaawaatiro,
Ng’empungu ebuuka mu bbanga.
623:6 Ma 15:9, Zab 141:4, Nge 11:14; 28:22Tolyanga mmere y’oyo alina eriiso ebbi,
So teweegombanga nva ze nnungi:
723:7 Zab 12:2Kubanga nga bw’alowooza mu nda ye, bw’ali bw’atyo:
Lya, nywa, bw’akugamba;
Naye omutima gwe teguli wamu naawe.
8Ennoga gy’olidde onoogisesema,
N’ofiirwa ebigambo byo ebirungi.
9Toyogeranga omusirusiru ng’awulira;
Kubanga anaanyooma amagezi ag’ebigambo byo.
1023:10 Nge 22:28Tojjululanga kabonero ka nsalo ak’edda;
So toyingiranga mu nnimiro ez’abatalina bakitaabwe:
1123:11 Nge 22:23Kubanga omununuzi waabwe wa maanyi;
Anaawozanga ensonga yaabwe naawe.
12Ssangayo omutima gwo eri okuyigirizibwa,
N’amatu go eri ebigambo eby’okumanya.
1323:13 Nge 13:24; 19:18Tolekanga kubuulirira omwana:
Kubanga bw’onoomukubanga n’omuggo, talifa.
14Omukubanga n’omuggo,
N’owonya emmeeme ye mu magombe.
1523:15 Nge 29:3Mwana wange, omutima gwo oba nga gwa magezi,
Omutima gwange gunaasanyuka, ogwange:
16Weewaawo, emmeeme yange eneesanyuka,
Emimwa gyo bwe gyogera eby’ensonga.
1723:17 Zab 37:1, Nge 28:14Omutima gwo gulemenga okukwatirwa obuggya abalina ebibi:
Naye obeerenga mu kutya Mukama okuzibya obudde:
1823:18 Nge 24:14Kubanga mazima empeera weeri;
N’essuubi lyo teririmalibwawo.
1923:19 Nge 9:6Mwana wange, wulira obeerenga n’amagezi,
Oluŋŋamyenga omutima gwo mu kkubo.
2023:20 Nge 28:7, Is 5:11, Luk 21:34, Bef 5:18Tobanga ku muwendo gw’abo abeekamirira omwenge;
Mu abo abeevuubiika ennyama:
2123:21 Nge 6:10,11Kubanga omutamiivu n’omuluvu balituuka mu bwavu:
N’okubongoota kunaayambazanga omuntu enziina.
2223:22 Nge 1:8; 30:17, Bef 6:1Owuliranga kitaawo eyakuzaala,
So tonyoomanga nnyoko ng’akaddiye.
2323:23 Nge 4:5,7Gulanga amazima, so togatundanga;
Weewaawo, amagezi n’okuyigirizibwa n’okutegeera.
24Kitaawe w’omutuukirivu anaasanyukanga nnyo:
N’oyo azaala omwana ow’amagezi anaabanga n’essanyu.
25Kitaawo ne nnyoko basanyukenga,
N’omukazi eyakuzaala ajaguzenga.
26Mwana wange, mpa omutima gwo,
N’amaaso go gasanyukirenga amakubo gange.
2723:27 Nge 22:14Kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu;
N’omukazi omugenyi bunnya bwa kanyigo.
2823:28 Nge 7:12Weewaawo, ateega ng’omunyazi,
Era ayaza abasala enkwe mu bantu.
2923:29 Lub 49:12Ani alaba obuyinike? ani alaba ennaku? ani alina ennyombo?
Ani alina okwemulugunya? ani alina ebiwundu eby’obwereere?
Ani amyusa amaaso?
3023:30 Nge 9:2,5, Is 5:11,22Abo abalwawo ku mwenge;
Abo abagenda okunoonya omwenge omutabule.
31Totunuuliranga mwenge nga gumyuse,
Bwe gwolesanga ebbala lyagwo mu kikompe,
Bwe gukka empola:
3223:32 Yob 20:16Enkomerero guluma ng’omusota,
Gusonsomola ng’embalasaasa.
33Amaaso go galiraba eby’ekitalo,
N’omutima gwo gulyogera ebigambo eby’obubambaavu.
34Weewaawo, oliba ng’oyo agalamira wakati mu nnyanja,
Oba ng’oyo agalamira waggulu ku mulongooti.
3523:35 Is 56:12, 2 Peet 2:22Bankubye, bw’olyogera bw’otyo, ne ssirumwa;
Bankubye, ne ssiwulira:
Ndyebaka ddi? naagunoonya nate omulundi ogw’okubiri.