
22
122:1 Mub 7:1Erinnya eddungi lya kulondebwa okusinga obugagga obungi,
N’okuganja n’okwagalwa okusinga ffeeza ne zaabu.
222:2 Nge 29:13, Yob 31:15Omugagga n’omwavu baalabagana:
Mukama ye yabatonda bonna.
322:3 Nge 14:16; 27:12Omuntu omutegeevu alaba akabi ne yeekweka:
Naye abatalina magezi bayita buyisi ne bafiirwa.
422:4 Nge 21:20,21Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu
Ye mpeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.
522:5 Nge 21:23Amaggwa n’ebyambika biri mu kkubo ery’omubambaavu:
Akuuma emmeeme ye alibibeera wala.
622:6 Bef 6:4Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu,
Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.
7Omugagga afuga abaavu,
N’eyeewola aba muddu w’awola.
822:8 Yob 4:8, Kos 10:13Asiga obutali butuukirivu alikungula obuyinike:
N’omuggo ogw’obusungu bwe guliggwaawo.
922:9 Nge 19:17, Luk 14:13,14Alina eriiso erigabaagaba anaabanga n’omukisa;
Kubanga awa omwavu ku mmere ye.
1022:10 Nge 26:20Gobanga omunyoomi, n’okuyomba kunaavangawo;
Weewaawo, okuwakana n’okuswazibwa birikoma.
1122:11 Nge 16:13, Mub 10:12Ayagala omutima omulongoofu,
Olw’ekisa eky’omu mimwa gye kabaka kyanaavanga abeera mukwano gwe.
12Amaaso ga Mukama gakuuma oyo alina okumanya,
Naye asuula ebigambo eby’omuntu asala enkwe.
1322:13 Nge 26:13Omugayaavu ayogera nti Empologoma eri bweru:
N’attirwa mu nguudo.
1422:14 Nge 2:16; 23:27, Mub 7:26Akamwa k’abakazi abagenyi bunnya buwanvu:
Akyayibwa Mukama aligwa omwo.
1522:15 Nge 13:24Obusirusiru busibibwa mu mutima gw’omwana omuto;
Naye omuggo ogukangavvula gulibugobera wala okuva gy’ali.
1622:16 Yob 20:19-23, Nge 28:22, Am 5:11Ajooga omwavu okwongera ku magoba ge,
N’oyo agabira omugagga batuuka mu kwetaaga bwetaazi.
17Tega okutu kwo owulire ebigambo eby’ab’amagezi,
Era ssaayo omutima gwo eri okumanya kwange.
18Kubanga kigambo kya ssanyu bw’obeera nabyo mu nda yo,
Bwe binywerera wamu ku mimwa gyo.
19Obwesige bwo bube eri Mukama,
Kyenvudde nkubimanyisa leero ggwe.
20Sikuwandiikidde birungi nnyo nnyini
Eby’okuteesa n’eby’okumanya;
2122:21 Luk 1:3,4Okukutegeeza ebigambo eby’amazima bwe bitabuusibwabuusibwa,
Olyoke obaddize ebigambo eby’amazima abo abakutuma?
2222:22 Yob 5:4; 31:21, Zek 7:10Tonyaganga mwavu kubanga mwavu,
So tojooganga abonyaabonyezebwa mu mulyango:
2322:23 1 Sam 24:15, Nge 23:11, Yer 50:34Kubanga Mukama ye aliwoza ensonga yaabwe,
Era abo ababanyaga alibanyagako obulamu.
24Tokwananga muntu wa busungu:
Togendanga na muntu ow’ekiruyi:
25Olemenga okuyiga amakubo ge,
N’ofunira emmeeme yo ekyambika.
2622:26,27 Nge 6:1,2; 20:16Tobanga ku muwendo gw’abo abakuba mu ngalo,
Newakubadde ogw’abo abeeyimirira amabanja:
27Oba nga tolina kya kusasula,
Lwaki akuggirawo ekitanda kyo wansi wo?
2822:28 Ma 19:14, Nge 23:10Tojjululanga kabonero ka nsalo ak’edda,
Bajjajjaabo ke baasimba.
2922:29 1 Sam 16:21, 1 Bassek 11:28; 12:6,8Olaba omuntu anyiikira mu mulimu gwe? aliyimirira mu maaso ga bakabaka;
Taliyimirira mu maaso ga bakopi.