
21
121:1 Ezer 6:22Omutima gwa kabaka guli mu mukono gwa Mukama ng’emigga:
Agukyusa gy’ayagala yonna.
221:2 1 Sam 16:7, Nge 16:2; 24:12, Luk 16:15Buli kkubo ery’omuntu ddungi mu maaso ge ye:
Naye Mukama ye apima emitima.
321:3 1 Sam 15:22, Kos 6:6Okukola eby’ensonga n’eby’omusango
Kukkirizibwa Mukama okusinga ssaddaaka.
421:4 Zab 101:5, Nge 6:17Amaaso ageegulumiza n’omutima ogw’amalala,
Ye ttabaaza ey’ababi, kwe kwonoona.
521:5 Nge 10:4; 19:2Ebirowoozo eby’omunyiikivu bireeta bungi bwereere
Naye buli muntu ayanguyiriza ayanguya okwetaaga obwetaazi.
6Okufuna obugagga n’olulimi olulimba
Mukka ogutwalibwa eruuyi n’eruuyi; ababunoonya banoonya okufa.
7Ekyejo eky’ababi kiribamalawo;
Kubanga bagaana okukola eby’ensonga.
821:8 Nge 2:15Ekkubo ly’oyo eyeebinise omusango likyamakyama nnyo nnyini:
Naye omulongoofu omulimu gwe mulungi.
921:9 Nge 15:24Beeranga ku nnyumba waggulu awafunda
Olemenga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba engazi.
10Emmeeme y’omubi yeegomba obubi:
Munne taganja n’akamu mu maaso ge.
1121:11 Nge 19:25Omunyoomi bw’abonerezebwa: atalina magezi agafuna:
Era ow’amagezi bw’ayigirizibwa aweebwa okumanya.
1221:12 Zab 37:35,36Omuntu omutuukirivu alowooza ennyumba ey’omubi;
Ababi bwe basuulibwa ne babula.
1321:13 Mat 7:2; 18:20-34Aziba amatu ge omwavu bw’akaaba,
Era naye alikaaba, naye taliwulirwa.
14Ekirabo eky’omu kyama kikkakkanya obusungu,
N’ekitone eky’omu kifuba kikkakkanya ekiruyi ekingi.
1521:15 Nge 10:29Okukolanga eby’ensonga ssanyu lya mutuukirivu.
Naye kuzikirira eri abakola ebitali bya butuukirivu.
16Omuntu awaba okuva mu kkubo ery’okutegeera
Aliwummulira mu kkuŋŋaaniro ery’abafu.
17Ayagala essanyu anaabanga mwavu:
Ayagala omwenge n’amafuta taabenga mugagga.
1821:18 Nge 15:9, Mat 5:6; 6:33Omubi aba kinunulo kya mutuukirivu;
N’oyo asala enkwe adda mu kifo ky’abagolokofu.
19Beeranga mu nsi ey’eddungu
Olemenga okubeera n’omukazi omuyombi anyiiganyiiga.
2021:20 Yob 20:15,18, Zab 112:3Mu nnyumba ey’omutuukirivu mulimu obugagga obw’omuwendo omungi n’amafuta;
Naye omusirusiru abumira.
2121:21 Nge 15:9, Mat 5:6; 6:33Agoberera obutuukirivu n’okusaasira
Alaba obulamu n’obutuukirivu n’ekitiibwa.
2221:22 2 Sam 5:6-9, Mub 7:19Omuntu ow’amagezi alinnya mu kibuga eky’ab’amaanyi,
N’akkakkanya amaanyi ag’obugumu bwakyo.
2321:23 Nge 13:3Buli akuuma akamwa ke n’olulimi lwe
Akuuma emmeeme ye obutalaba nnaku.
24Omuntu ow’amalala eyeegulumiza, erinnya lye munyoomi,
Akolera emirimu mu ttitimbuli ery’amalala.
2521:25 Nge 13:4Okwegomba okw’omugayaavu kumutta;
Kubanga emikono gye gigaana okukola emirimu.
2621:26 Zab 37:26Wabaawo ayaayaana ennyo okuzibya obudde:
Naye omutuukirivu awa n’atamma
2721:27 Nge 15:8, Is 66:3Ssaddaaka ey’ababi ya muzizo:
Bw’agireeta n’emmeeme embi, tesinga nnyo kuba ya muzizo?
2821:28 Nge 19:9Omujulirwa ow’obulimba anaabulanga:
Naye omuntu awulira anaayogeranga nga tewali amulimbulula.
29Omuntu omubi akakanyaza amaaso ge:
Naye omugolokofu aliraanya amakubo ge.
3021:30 Nge 19:21, Is 8:10Tewali magezi newakubadde okutegeera
Newakubadde okuteesa ku Mukama.
3121:31 Zab 20:7, Yer 3:23Embalaasi etegekerwa olunaku olw’olutalo.
Naye okuwangula kuva eri Mukama.