
20
120:1 Lub 9:21, Nge 23:29-32, Is 28:7Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi;
Era buli akyama olw’ebyo talina magezi.
220:2 Nge 8:36; 19:12Entiisa ya kabaka kuwuluguma kwa mpologoma:
Amusunguwaza ayonoona obulamu bwe ye.
320:3 Lub 13:7-9, Nge 17:14Omuntu eyeewala ennyombo yeefunira ekitiibwa:
Naye buli musirusiru ayagala okuyombanga.
420:4 Nge 19:15,24Omugayaavu taganya kulima olwa ttoggo;
Kyanaavanga asabiriza okukungula nga kutuuse n’ataba na kintu.
520:5 Nge 18:4Okuteesa okw’omu mutima gw’omuntu kuli ng’amazzi ag’omu luzzi oluwanvu;
Naye omuntu alina okutegeera alikusena.
620:6 Nge 25:14, Yer 5:1, Mat 6:2, Luk 18:8Abantu bangi abalirangira buli muntu ekisa kye ye:
Naye omuntu omwesigwa ani ayinza okumulaba?
720:7 1 Bassek 15:4, Zab 112:2Omuntu omutuukirivu atambulira mu butayonoona bwe,
Abaana be abaddawo balina omukisa.
820:8 Nge 16:10Kabaka atudde ku ntebe esalirwako emisango
Asaasaanya obubi bwonna n’amaaso ge.
920:9 Yob 15:14, Mub 7:20Ani ayinza okwogera nti Nnongoosezza omutima gwange,
Ndi mulongoofu mu kwonoona kwange?
1020:10 Nge 11:1Ebipima ebitenkana n’ebigera ebitenkana
Byombi bya muzizo eri Mukama.
1120:11 Mat 7:16Era n’omwana omuto yeemanyisa olw’ebikolwa bye,
Omulimu gwe oba nga mulongoofu, oba nga mulungi.
1220:12 Kuv 4:11, Zab 94:9Okutu okuwulira, n’eriiso eriraba,
Mukama ye yakola byombi.
1320:13 Nge 12:11; 19:15, Bar 12:11Toyagalanga kwebaka oleme okutuuka mu bwavu;
Zibulanga amaaso go, onokkutanga emmere.
14Tekiriiko kye kigasa, tekiriiko kye kigasa, bw’ayogera agula:
Naye ng’amaze okugenda n’alyoka yeenyumiriza.
1520:15 Yob 28:18Waliwo zaabu n’amayinja amatwakaavu mangi nnyo:
Naye emimwa egy’okumanya kya buyonjo kya muwendo mungi.
1620:16 Nge 27:13Twalanga ekyambalo ky’oyo eyeeyimirira gw’atamanyi;
Era obowenga oyo eyeeyimirira b’atamanyi.
1720:17 Nge 9:17Emmere ey’obulimba ewoomera omuntu;
Naye oluvannyuma akamwa ke kalijjula omusenyu.
1820:18 Nge 11:14; 24:6Buli kigambo ky’omalirira kinywezebwa na kuteesa:
Era tabaalanga n’okukulemberwa okw’amagezi.
1920:19 Nge 11:13; 13:3Atambulatambula ng’alyolyoma abikkula ebyama:
Kale teweetabulanga n’oyo ayasama ennyo emimwa gye.
2020:20 Kuv 21:17, 2 Sam 21:17, Yob 18:5Akolimira kitaawe oba nnyina,
Ettabaaza ye erizikizibwa mu kizikiza ekikutte zigizigi.
2120:21 Nge 13:11Obusika buyinzika okufunibwa amangu olubereberye;
Naye enkomerero yaabwo teriba na mukisa.
2220:22 Zab 27:14, Nge 24:29, Bar 12:17,19, 1 Peet 3:9Toyogeranga nti Ndisasula obubi:
Lindiriranga Mukama naye anaakuwonyanga.
2320:23 Nge 20:10Ebipima ebitenkana bya muzizo eri Mukama;
Ne minzaani ey’obulimba si nnungi.
2420:24 Nge 16:9Amagenda g’omuntu gava eri Mukama;
Kale nno omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lye?
2520:25 Mub 5:2,5Kyambika eri omuntu, okwogera ng’ayanguyiriza nti Kitukuvu,
Awo ng’amaze okweyama n’alyoka abuuza.
26Kabaka ow’amagezi awewa ababi,
Era abaleetako nnamuziga ewuula.
2720:27 Zef 1:12, 1 Kol 2:11Omwoyo gw’omuntu ye ttabaaza ya Mukama,
Ekebera ebitundu byonna eby’olubuto eby’omunda.
2820:28 Nge 16:12Okusaasira n’amazima biwonya kabaka:
Era okusaasira kwe kuwanirira entebe ye.
2920:29 Nge 16:31Abalenzi ekitiibwa kyabwe maanyi gaabwe:
N’abakadde omutwe oguliko envi bwe bulungi bwabwe.
30Emiggo egiruma gimalawo obubi:
N’enga zituuka mu bitundu eby’olubuto eby’omunda.